OLINA omukozi mulungi kyokka nga muzibu?
Sooka olindeko okumugoba, sooka ogezeeko okumukolamu omulimu. Bano baba balungi nnyo mu kukola emirimu era oyinza okuboogerako ng’abalina ekitone. Bwe kuba kutunda oyinza okulowooza nti, alina kye yakola bakasitoma, nga lw’abulawo beesala, kyokka nga ne gwe muba mulowooza nti, muzibu okuguza bw’amukwatako avaawo aguze bye mubadde mutasuubira.
Tebakoma ku kweyisa bubi wabula babeera n’obusobozi obumalamu abalala amaanyi nga boogerera bubi bakama baabwe n’okulaga abalala nti, tebalina mugaso mu kkampuni, kubanga emirimu egisinga obukulu ye y’agikola.
Ate olw’okulowooza nti, baakitalo batuuka n’okumanyiira bakasitoma. Olwaleero ab’ekitongole kya Forbes batuwa amagezi ku ngeri gye tuyinza okukwatamu abakozi nga bano, baleme kwonooneka ate era baleme kwonoona balala.
1 Teekawo, mu ngeri etegeerekeka eri buli omu, enneeyisa esuubirwa mu buli mukozi : Kino olina okukikola ku ntandikwa era ne bw’oba tewakikola osobola okutandika kati. Ennambika eno tejja kuba ng’etunuulidde ono yekka, wabula buli mukozi. Okugeza abakozi ab’ekika kino tebaagala kukolera mu biseera abantu abalala bonna nwe bakolera.
Akugamba nti, mbadde ndowooza nti, okukola omulimu ne nguggusa ky’ekikulu, lwaki ofaayo essaawa ze ntuukirako ku mulimu! Olina okukiraga eri buli mukozi nti, tulina essaawa ze tutandikirako oboolyawo n’essaawa ezinnyuka era nga buli mukozi alina okuzigondera.
2 Ggulawo emikutu gy’empuliziganya : Waliwo embeera abakozi oba abakozesa gye bayinza okuteekawo ne wataba mpuliziganya yonna. Embeera eno eba mbi nnyo kubanga abantu baba bagenda kukola emirimu oluusi awatali na kumanya biruubirirwa oba ebigendererwa mu nkola ekolebwamu. Okugeza singa oba tossizzaawo mpuliziganya n’abakozi kibabeerera kizibu okukubuuza n’okunnyonnyoka amateeka n’ebiragiro by’oba ossizzaawo.
Omukozi ayagala okuyingirira wonna w’ayagalira oba olina kumuyigiriza nti, ekyo kitta
emirimu naddala egirina okukolerwa awamu ne mu kiseera ekigere.
Olulala wagwaawo eby’amangu ebyetaagisa buli mukozi okuva ku by’abaddeko okukola ku mbeera eguddewo, kyokka mugenda okumagamaga nga mukozi munnammwe gwe musibirako olukoba tannatuuka.
Ekirala bakasitoma bateekwa okuba nga bamanyi ebiseera we mubeererawo ne lwe mutabaawo. Bwe batuukawo nga temunnatuuka babaggyamu obwesige. N’ebirala bingi ono omukozi by’atayinza kutegeera okuggyako ng’obimubuuliridde. Engeri yokka gy’ojja okusobola okubimuyigiriza kwe kuba nga waggulawo, basobola okwogera naawe.
3 Teekawo ebibonerezo : Katonda yatonda omuntu nga ayagala kukola. Abasinga obungi ku ffe singa twali tuweereddwa omukisa ogw’okufuna byonna bye twetaaga nga tetukoze, twandigututte n’essanyu lingi.
Abalala twagala okukola kyokka waliwo embeera lw’ekaluba n’ogamba nti, singa si kki, omuntu leero teyandikoze, kyokka n’ogenda n’okola olw’obuvunaayizibwa. Olw’okuba abantu tebaagala kukola olumu balina kuwalirizibwa okukola era ne baba nga bakimanyi nti, bwe batakola kibasuubirwamu waliwo ebizibu ebijjirako. Kuyinza okuba okubasalako ssente, okubamma ebimu ku birungi bye balina okufuna ng’akasiimo, oba n’okuswazibwa mu bakozi banne.
Wabula mu ngeri y’emu era olina okussaawo ebirungi oba biyite ebirabo ebiweebwa omukozi akoze ekitali kya bulijjo ne kibeera nti, ekibakozesa obulungi si kutya bibonerezo byokka wabula n’ebirungi ebijja n’okukola eby’ensusso. Ka tukome wano olwaleero, ate kwe tunaayongereza wiiki ejja, Mukama bw’anaaba akkirizza.
ENGERO Z’ABAGAGGA:
Nnyinikabya tayasa, abumbirira