Amawulire

Gavumenti esabye amakampuni ga yinsuwa okwettanira enkola za Tekinologiya

Gavumenti esabye amakampuni ga yinsuwa okwettanira enkola za Tekinologiya

Aba Gold Star nga basala cake n'omukungu wa Insurance Regulatory authority
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Nelson Kiva
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola amakampuni ga yinsuwa mu Uganda ekya Insurance Regulatory Authority (IRA)  kisabye amakampuni  okukozesa tekinologiya omupya okulaba nti  mpeereza zaabwe zituuka ku buli muntu.

Okusinziira ku kitongole kino, amakampuni gano galina okwongera amaanyi mu busobozi bwago okusobola okutambula ne nkyukakyuka ezirimu mu tekinologiya kibasobozese okukyusa mu mpeerza zaabwe.
Ng’ayogera mu mukolo gw’okukuza emyaka 30 egya GoldStar Insurance Company ogwabadde ku Kabira Country Club mu Kampala , omukulu w’ekitongole kya IRA avunaanyizibwa ku kulondoola amakampuni, Bernard Obel, yagambye nti amakampuni ga yinsuwa gatunuulira emyaka egidakko ng’o mukisa gw’obuweereza obulungi
Alabudde nti tekinologiya, enkyukakyuka mu byetaago by’abakasitoOma, obukuumi bw’enkola za kompyuta (cybersecurity) n’obulabe obupya mu by’enfuna birina okutunuliRwa ennyo.
“Nga tukuza eby’emabega, tulina okwetegekera ebiseera eby’omu maaso,” Obel bweyategeezezza.
Ebigambo bino bijjidde mu kiseera amakampuni ga yinsuwa gali mu kaweefube w’okwongera abantu abafuna obukuumi bwa yinsuwa.
Obel yagambye nti bakasitooma beeyongera okusuubira empeereza za yinsuwa  okubeera ku mutimbagano era nga zisobola okufunibwa kumpi amangu ago. 
 “Bakasitooma basuubira empeereza zayinsuwa okubeera ku mutimbagano era nga zisobola okufunibwa kumpi amangu ago,” bweyagambye.
Yasabye GoldStar okukozesa emyaka gyayo 30 ng’omukisa okwebuuza ku kye baagala okubeera mu myaka 30 egijja.
“Ekibuuzo ekikulu ennyo eri GoldStar ekiro kino si kyokka nti, ‘Tutuuse ku ki mu myaka 30 egiyise?’ Wabula era nti, ‘GoldStar twagala ebeere  ki mu myaka 30 egijja?’
Omukulu wa GoldStar, John Kawuma, yagambye nti kampuni yawandiika bizinensi ya bwannannyini ey’obuwumbi bwa ssente za Uganda obukadde 53, era n’esasula obubenje n’ebirala ebikakasiddwa obuwumbi bwa ssente za Uganda obukadde 15 okutuuka ku nkomerero ya 2025.
Yagambye nti ensimbi ezo ezaasasulwa zaali nga zenkana ebitundu 28 ku 100 ku bizinensi eyali ewandiikiddwa.
Yayongedeko nti GoldStar ebadde ekula ku kigero kya wakati nga 15 ku 100, bw’ogeraageranya n’okukula kw’ekitongole kyonna okwali nga 2 ku 100 ku nkomerero ya 2025.
“GoldStar era eraze okukula kwa bizinensi okugenda mu maaso. Ensimbi eziva mu by’obwannannyini zaakula n’ebitundu 21 ku 100 ne zituuka ku bukadde bwa ssente za Uganda 51.2 mu 2025, ate omugabo gwayo ku katale ne gutuuka nga ku bitundu 5.3 ku 100.

Kino kyayambibwa enkola ennungi mu by’obwannannyini bw’ebizimbe n’ebyuma, entambula n’ebintu ebirala eby’obusuubuzi,” Kawuma bwe yagambye.
Kawuma yagambye nti kampuni egenda kwongera okuteeka ensimbi mu tekinologiya, enkola z’okuddukanya amakampuni, obukugu bwa AI, okutendeka n’okukulaakulanya abakozi, awamu n’obukuumi bwa kompyuta.
“Obweyamo bwaffe kwe kwongera okuteeka ensimbi mu mpeereza  za tekinologiya n’obukugu obulala obuyinza okutuyamba okuddamu eri ebyetaago by’abakasitoma baffe ebikyukakyuka,” Kawuma bwe yagambye.
Omumyuka wa ssentebe wa board ya GoldStar,  Sudhir Ruparelia, yagambye nti enkulaakulana kampuni gy’etuseeko mu myaka 30 tewandibaddewo awatali bakasitoma baayo, be yatendereza olw’okwesiga kampuni.

Tags: