Amawulire

Abavubuka musanvu abagambibwa okutigomya ebyalo omuli Kinnawataka,Kaleerwe, ne Mbuya

ABAVUBUKA 7 abagambibwa okuba aboomutawaana mu kutemula, okubba n'okutigomya abatuuze mu bitundu bya Kinnawattaka, Kaleerwe ne Central zooni e Mbuya, bakwatiddwa n'ejjambiya wamu n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe.

Abavubuka musanvu abagambibwa okutigomya ebyalo omuli Kinnawataka,Kaleerwe, ne Mbuya
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAVUBUKA 7 abagambibwa okuba aboomutawaana mu kutemula, okubba n'okutigomya abatuuze mu bitundu bya Kinnawattaka, Kaleerwe ne Central zooni e Mbuya, bakwatiddwa n'ejjambiya wamu n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe.

Abamu ku bakwatiddwa, kuliko Edward Kyabaggu amanyiddwa nga Zagga  28, George Kutosi amanyiddwa nga Kiwuka / virus 26, nga bano babadde babayigga ku kubbisa eryanyi era ng'emisango giri ku poliisi e Kinnawattaka.

Abalala abakwatiddwa, kuliko Ronald Kajura, Godwin Muzaale , Arafat Bengo, Samuel Boyi ne James Victor Odomel amanyiddwa nga Oundo.

Mu kikwekweto kino, poliisi ezudde smart tv, emizindaalo, essimu ezomungalo 14, obusowo bwa laptop  ne kaada z'abayizi n'ebirala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti, omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso okusanyaawo obubinja buno.

Tags: