BANNABYABUFUZI naddala abali ku ludda oluvuganya Gavumenti basabye Bannayuganda bonna okusitukiramu balwanirire enfuga egoberera amateeka kubanga bwenaasanawo buli muntu ajja kubeera mu bulabe.
Bino baabyogeredde ku kitebe kya Uganda Law Society ekisangibwa ku Acacia Avenue mu Kampala bwebaabadde bajjukira eyali munnabyabufuzi ate munnamateeka ow’erinnya Sam Kalegga Njuba eyayogeddwako nga eyalwanyisa ennyo efugabbi okuviira ddala mu mulembe gwa Amin.

Abaku ku bakulembeze b'oludda oluvuganya nga bali ku mukolo gw'okujjukira Sam Kalegga Njuba. Okuva ku kkono ye David Lewis Lubongoya, Rtd. Maj. Gen. Mugisha Muntu, Miria Matembe ne Dr. Ekwaro Ebuku.
Omukolo guno gwetabiddwako Bannabyabufuzi ab’enjawulo okuli Pulezidenti wa Alliance for National Transformation (ANT) Munnamagye eyagannyuka Maj. Gen. Mugisha Muntu, Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Lubongoya, Miria Matembe n’abalala kyokka nga buli omu yatenderezza Njuba olw’obukulembeze bwe ku mitendera egy’enjawulo.
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu mu bubaka bwe yatisse David Lewis Lubongoya, yagambye nti buvunaanyizibwa bwa buli Munnayugada okulwanirira enfuga ey’amateeka kubanga enkola eno bwenafuwa, buli muntu abeera mu bulabe.
Ono mu ngeri ey’enjawulo yategezeezza Bannamateeka nti bebakutte omumuli gw’okulwanirira enfuga ey’amateeka naddala mu kuwolereza abasibe abayinza okuba nga tebafunye bwenkanya kimala nga kino balina okukikola nga balabira ku yali Pulezidenti wabwe mu myaka gya 1970 Sam Kalegga Njuba.

Abaku ku bakulembeze b'oludda oluvuganya nga bali ku mukolo gw'okujjukira Sam Kalegga Njuba. Okuva ku kkono ye David Lewis Lubongoya, Rtd. Maj. Gen. Mugisha Muntu, Miria Matembe ne Dr. Ekwaro Ebuku.
Pulezidenti wa ANT Rtd. Maj. Gen. Mugisha Muntu yavumiridde omululu oguli mu Bannayuganda ng’abamu batuuka n’okutwala ebitali byabwe wamu n’okwenyigira mu buli bw’enguzi.
Yatenderezza Omugenzi Kalegga Njuba yali teyeloowozaako yekka era nga yafuba nnyo okulwanirira enfuga egoberera amateeka wamu n’eddembe ly’obuntu.
Eyaliko minisita w’empisa n’obuntu bulamu Miria Matembe yagambye nti kikwasa ennaku okuba nga Ssemateeka w’eggwanga eyabatwalira obudde okukola, ate waliwo abantu abamutyoboola kyokka amateeka negatabakolako kyegambye nti abo abakikola balina okweddako.
Amyuuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Anthony Asiimwe yagambye nti ekiseera eggwanga kyeririmu kisoomooza naddala mu nfuga ey’amateeka kyokka n’akakasa nti bajja kugenda mu maaso n’okugirwanirira wamu n’okwongera okusomesa Bannayuganda okumanya eddembe lyabwe.