Munnamateeka okuva mu Kampuni ya Barnabus Dyadi and Co.Advocates n’omukugu mu nsonga z'ettaka basimbiddwa mu kkooti e Nakawa ku misango gy’okufera obukadde 500 okuva ku munnansi wa China nga bamulimbye okumugulira ettaka e Kololo.

Abakwate nga bali ku kkooti
Munnamateeka Augustine Paul Kasasa ne Ronald Fisher Mundere omukugu mu kunonyereza ku nsonga z’ettaka bebasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ento e Nakawa Jonathan Tiyo nabasomera emisango okuli ogw’okufuna Ssente mu lukujukuju n’okwekobaana okuzza omusango. Era nebagyegaana.

Abakwate nga bali mu kaguli ka kkooti
Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulembeddwa Judith Babirye kigambibwa nti Kasasa ne Mundere wamu n’abantu abalala nga June,8,2026 ku woteeri ya Kololo e Nakawa e Kampala nga bakozesa olukujjukujju bafera munansi wa China Li Huafeng nebajako ssente 520,000,000 nga befuddle nti bagenda kumugulira ettaka e Kololo Coral Crescent Plot 12 kyebatatukiriza.
Omulamuzi Tiyo abasindiise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga October,1,2026.