Amawulire

UCC ewadde abayiiya ba firimu 22 akawumbi ka ssente okubasiima

EKITONGOLE ekirung'amya eby'empulizuganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission kiwaddeyo ssente ezisoba mu kawumbi ziyambeko ku bannabitone n'abayiiya ba firimu eziwandiikibwa ate era ne zizannyibwa Bannayuganda.

Akulira ekitongole Kya UCC ,George William Nyombi Thembo bwe yabadde akwasa omu ku bawandiisi ba firimu ceeke
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKITONGOLE ekirung'amya eby'empulizuganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission kiwaddeyo ssente ezisoba mu kawumbi ziyambeko ku bannabitone n'abayiiya ba firimu eziwandiikibwa ate era ne zizannyibwa Bannayuganda.

 

Abayiiya ba firimu 22 abanywedde mu bannaabwe akendo  be baweereddwa ssente zino era nga akulira ekitongole kya UCC, George William Nyombi Thembo yabakwasizza cceeke okusinziira ku buli omu omuwendo gwe yawangude.

 

 

Omukolo gwayindidde ku ofiisi za UCC e Bugolobi mu Kampala. Firimu 22 ezaasukkulumye ku zinnaazo ze zawangudde ssente zino nga kuliko  eya Love Equation eya Charles James Ssenkubuge eweereddwa obukadde 143, AFCON eya Julius Ddumba eweereddwa obukadde 55, Gipir and Labong eweereddwa obukadde 20, The Moon eweereddwa obukadde 80 n'endala okuli; Omusajja Takaaba, Why I Love You, Seeds of Change, n'endala ziweereddwa ensimbi.

 

 

Nyombi Thembo yannyonnyodde nti abaweereddwa ssente zino bali bamala dda okuwandiika firimu zaabwe nga zikwata ku miramwa egyenjawulo era kati bagenda kusobola okuzizannya mu ngeri ey'omulembe eggyayo ekitiibwa kya Uganda.

 

Yagasseeko nti okugaba ssente zino beesigamye ku bintu bingi naddala omutindo n'empandiika ya ffirimu era basuubira nti firimu ezigenda okufulumizibwa ziggya kuba zisobolera ddala okuvuganya ku mutindo gw'ensi yonna.

Tags:
UCC