Abantu basatu abagambibwa okugoberera abasuubuzi ne bamusigansimbi ne babanyagako ssente, poliisi ebakutte.
Abakwatiddwa, kuliko Sadic Byanyima, Joseph Waibale, ne Ivan Kisongode abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kirondoolera ku boda ne banyaga abasuubuzi ssente ku kifuba.
Ate nga Sept 19 poliisi yakutte abantu babiri n'ezuula ne pikipiki emu ate nga Sept 24 yakutte omuntu omulala omu era n'ezuula ne pikipiki endala bbiri.
Pikipiki ezaakwatiddwa, kuliko UMA 366LZ , UMA 081MX , UMA 073NP, ne UMA 018NX nga zonna kika kya Haojue.