JAMES Kalisema, amyuka omubaka wa Pulezidenti e Kasangati (RDC), alambudde emirimu gy'amazzi agali mu kuzimbibwa bannakibiina kya Rotary Club ya Gayaza ku ssomero lya Gavumenti erya Gayaza C/U Primary School erimanyiddwa nga Kaddongo.
Dan Kiguli Kibuuka, amyuka Pulezidenti wa Gayaza Rotary Club, ku lwa Noah Ntensibe, Pulezidenti wa Gayaza Rotary Club atali mu ggwanga mu budde buno, abuulidde RDC nti baasazeewo okukwatirako Gavumenti nga bawa essomero lino wamu n'abatuuze amazzi amayonjo nga bagenda kuteeka ku ssomero lino ttaapu 9 ate ekyalo bakigabira ttaapu bbiri nga amazzi gano ga bwereere kubanga bagenda kubeera bagajja mu ttaka okugenda mu ttanka y'amazzi ya mitwalo gumu egenda okugabira ttaapu zino.

President Dan Kiguli Ku Kono Nga Alegeza Rdc Awagenda Okutekebwa Ttanka (1)
Dan yategeezezza nti bannakibiina kya Rotary bano guno si gwe mulundi ogusooka nga badduukirira amasomero era amazzi bwe gatyo baagagabira abatuuze b'e Kiwenda mu Munisipaali y'e Nansana wamu ne ku ssomero lya Springfield Junior School e Kiwenda era nga ssente bannakibiina ba Rotary ya Gayaza be baazeesondamu, nga omulimu guno gwaweereddwa aba kampuni ya Kasthew Constraction Ltd era Emmy Mujuzi eyakuliddemu omulimu yakakasiza RDC nti ogwezi gwe October omwaka guno 2026 nga tegunnagwaako buli kimu kijja kuba kiwedde.
RDC Kalisema yasanyukidde nnyo enteekateeka eno era yeebazizza bannakibiina olw'omutima omulungi n'ategeeza nti Gavumenti yali yayagala dda okuyamba essomero lino mu kizibu ky'amazzi naye Rotary bwe yeereddeyo bagibebaza nnyo era asabye abakulira essomero okulaba nga balabirira ttaapu zino obutayononeka era n'asaba abatuuze okukola akakiiko ak'enjawulo akagenda okulabirira ttaapu zino obutayonooneka.

James Kalisema RDC wa Kasangati Mu Suuti Ya Bbulu Nga Awayaamu Ne Dan Kiguli Kibuuka Presidenti Wa Gayaza Rotary Club Ku Bikwata Ku Pulejekiti Ya Mazzi Eno (1)