Amawulire

AMAWULIREVision Group ewadde abayizi e Tororo ebitabo

KKAMPUNI ya Vision Group ewadde abayizi ba St. Peter’s College Tororo Boys ebitabo 100, ebibalirwamu obukadde bubiri n’ekitundu.

Akulira Vision Group, Don Wanyama ng’abuuza ku Catherine Onapito ne bamulekwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKAMPUNI ya Vision Group ewadde abayizi ba St. Peter’s College Tororo Boys ebitabo 100, ebibalirwamu obukadde bubiri n’ekitundu.
Byabakwasiddwa akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama, ku Silver Spring e Bugoloobi ku kijjulo ekyategekeddwa abaasomeroko mu ssomero lino okujjukira eyaliko munnamawulire wa Pulezidenti era omubaka Francis Onapito Ekomoloit n’okusonda ssente z’okuddaabiriza ebizimbe by’essomero.

Ebitabo kwabaddeko ebya Mathematics, Biology, English, Geography, Physics ne Chemistry nga byakwasiddwa abakulira ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lino.
Wanyama, eyabadde omwogezi w’olunaku yayogedde ku Onapito nga mukwano gwe eyamubangula, eyali omukugu, omuzadde era eyaleka omukululo. Yayogedde ku bulamu bwa Onapito okuva mu buvubuka ku St. Peter's College ne Makerere University, gye yakugukira mu byamawulire omulimu gwe yakola n’obwesimbu. Yagambye nti Onapito y’omu ku batandika Olupapula lwa Monitor oluvannyuma olwafuuka Daily Monitor bwe yali tannayingira byabufuzi n’okubeera munnamawulire wa Pulezidenti Museveni.
Nnamwandu, Catherine Onapito yagambye nti wadde bba yabava ku maaso, tayinza kubava mu birowoozo era baakumujjukiranga.
Akulira ekitongole kya Uganda Bankers Association, nga yasoma n’omugenzi yagambye nti, agwanidde okujjukirwa olw’ebirungi bye yakolera eggwanga. Ssentebe wa St. Peter’s College Tororo Old Boys Association Association, Polof. Fadhiru Pokoyo Kamba yasabye abaasomerako mu ssomero lino okunyweza obumu n’okuzzaawo ekitiibwa kyalyo.

Tags: