Amawulire

Emisango gy'ebyokulonda: Mulyanyama awonye ogw'ebiwandiiko

OKUWULIRA emisango egiwakanya ebyava mu kulonda okwetooloola eggwanga kugenda mu maaso, nga buli lukya waliwo ababivaako wadde ng’abalala bangi bakyalemeddeko okusuuza abaalangirirwa obuwanguzi.

Mulyanyama (ku ddyo) ne looya we Samuel Muyizza nga baakava mu kkooti e Makindye.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUWULIRA emisango egiwakanya ebyava mu kulonda okwetooloola eggwanga kugenda mu maaso, nga buli lukya waliwo ababivaako wadde ng’abalala bangi bakyalemeddeko okusuuza abaalangirirwa obuwanguzi.
MULYANYAMA AYISE KU GW'EBIWANDIIKO

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Andrew Khaukha yagobye omusango gw’obuyigirize n'ebiwandiiko ogumu ku gibadde givunaanibwa omubaka Kasirye Mulyanyama owa Makindye East.
Mulyanyama (NUP) yawaabirwa Judith Abaho (NRM) ng'amulanga butaba na biwandiiko ssaako okumubba akalulu. Wabula omulamuzi Khaukha omusango gw'ebiwandiiko yagugobye ekyalese Abaho ng’awera okujulira. Omulamuzi yagambye ekyo kyasalibwawo dda akakiiko k’ebyokulonda takiddamu.
Kkooti y’emu yasigazza kutunula mu kya kubba kalulu n'emivuyo egyetobekera mu kulonda. Omulamuzi awadde olwa October 19 ne 20, 2026 okuwulira omusango guno nga ku olwo kkooti lw’eneewulira okwewozaako kwa Mulyanyama.
BAGAANYI OKUTEESA
Omulamuzi Khaukha yakkaatirizza okuteeseganya wakati w’enjuyi zombi kyokka byagaanyi era bagenze mu kuwuliriza bujulizi zaabike emipiira. Bannamateeka bakkiriziganyizza nti okuteesa kugaanyi.
EYALI SSENTEBE WA LWENGO ALUMIRIZA
Eyali ssentebe wa disitukiti y’e Lwengo, George Mutabaazi ng’asinziira ku mutimbagano yategeezezza kkooti nti mukosefu kyokka aliko abasajja babiri be yakwata ku lunaku lw’okulonda nga bagulirira abalonzi mu bifo awalonderwa okwali Mugisha ku kyalo Kyalukwata ng’awa abantu wakati wa 1,000/- ne 2,000/- buli omu okulonda Namujju.
Mutabaazi ayagambye nti yakwata Magejjo gwe yasanga e Kikono ng’agulirira abalonzi n’abakwasa poliisi okuli; y’e Mayiri ne Kinoni kyokka baayimbulwa ku lunaku olwo lwennyini. Mutabaazi yeegaanyi okubaako empalana gy’alina ku Namujju nga bwe byaleeteddwa mu kkooti.
Abajulizi abalala kwabaddeko Sarah Nkonge eyawaaba eyategeezezza kkooti nti akulira eby’okulonda e Lwengo, Peace Mugabe yalangirira Namujju ng’ebifo ebironderwamu tebiweddeeyo era n’alumiriza ne Namujju okugulirira abalonzi ng’abawa obutebe, weema n’obukonge kwe baalina okufunira ssente balye ekyemisana ku lunaku lw’okulonda.
Okusinziira ku Nkonge, Mugabe yalangirira Namujju nga ku bifo 378, abazeeko 150 byokka era bwe yagezaako okwemulugunya ne bamutegeeza nti ekyuma kyali kyekyanze nga tebakyasobola kussaamu bifo birala.
Omulamuzi Rosette Confort Kania era yakkiriza akatambi akaleeteddwa Brendah Babirye ne kazanyibwa mu kkooti nga kaalaze Namujju ng’anoonya akalulu nga January 9, 2026 ku kyalo Lwebidaali ‘C’ mu ggombolola y’e Malongo gye yagabira enkumbi, weema, obutebe n’ensimbi enkalu.
Yabawa n’obukonge okusobola okufuna ekyokulya kyokka nga kwaliko obukwakkulizo ku bassentebe b’ebyalo nti ssinga ekyalo kibaako abalonzi 200 n’afuna obululu 100 olwo abatamuwadde ensimbi baalina okuzizza.
Oluvannyuma lw’akatambi kano okuzannyibwa, omulamuzi yalagidde essimu eweebweyo mu kkooti nga ekizibiti. Mu birala kkooti bye yasigazza ze zimu ku nkumbi n’obutebe bwa langi ya kyenvu nga buwandikiddwaako amannya ga Namujju nga gasirisiddwa ‘NCD’.
Namujju yagambye kkooti nti kituufu ebintu ebyogerwako yabigaba kuba yali akikola nga ssentebe wa NRM mu Lwengo era nga byaweebwa bukiiko bwa kibiina mu ggombolola zonna.
Namujju era yeegaanyi okulabikira mu katambi nti luno luno lukwe okumusuuza ekifo nti byonna ebyabaddemu bijingirire.
OBUJULIZI BW’OMUKUGU WA POLIISI BUTADDE KATUSHABE AWAZIBU
Omukugu wa poliisi mu kwekebejja empandiika n’emikono (signtures), SSP Erisa Sebuwuufu yabuulidde kkooti nti kituufu waaliwo okujingirira emikono okuli ogwa Claire Nakimbugwe eyakuuma akalulu ka Veronica Nanyondo ku Nkalwe P/S, Martin Ashaba eyali e Bukomansimbi P/S ne Tonny Bwanika eyali e KagogaB. Nanyondo yawaabira Ruth Katushabe ng’amulumriza okubba obuwanguzi bwe, bwe yeekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda ne bakyukyusa ebyava mu bifo musanvu nga bajingiridde emikono gya bajenti be.
BEGIMISA NE NAMBAZIIRA BAKYATTUNKA E SSEMBABULE
Mary Begumisa alemeddeko okusuuza Florence Nambaziira gw’alumiriza okwekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda ne bamubba.
Begumisa alumiriza Nambaziira nti talina biwandiiko bimusobozesa kuba mubaka nga bwe yali yeewandiisa yassaayo satifikeeti y’okusiba enviiri gy’agamba nti eno temusobozesa kubeera mubaka wa Palamenti.
Munnamateeka wa Begumisa, Obil Moses ayagala kkooti ekake akakiiko akavunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu okulabikako eri omulamuzi Thomas Ocaya bannyonnyole oba ebiwandiiko bya Nambaziira byenkanankana n’ebyo ebyetaagisa ku ky’omubaka wa Palamenti.
NAMUGGA ALEMEDDE KU BYUMA
Kkooti Enkulu e Masaka eyagala abakugu mu kwekebejja ebiwandiiko baleete alipoota ku kwekenneenya kwe bakola oluvannyuma lw'eyali omubaka wa Mawogola South, Goreth Namugga okusaba kkooti nti ekkirize bakafulu okwekenneenya okujingirira kw'empapula okwakolebwa mu kugatta obululu obwaviirako Dez Byuma owa NRM okulangirwa ku kifo ky'omubaka.
Namugga yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwa Byuma gw’alumiriza okubba obululu ng’ajingirra empapula (DR Forms) n'okutiisatiisa abajenti nga yeeyambisa abikuumaddembe.
Omulamuzi Thomas Ochaya yawadde olwa October 19, abakugu okubuulira kkooti bye bazuula mu kwekenneenya empapula okwagattirwa obululu. Kyokka munnamateeka wa Byuma, Geoffrey Kandeebe yategeezezza nti abakugu mu kwekebejja ebiwandiiko batono nnyo mu ggwanga ng’ate balina emirimu mingi.
Wabula Namugga agamba nti Byuma ne bannamateeka be bagezaako kubuzaabuza na kunafuya musango gwe ng’ate empapula baazifuna dda.
Mu ngeri y’emu, omusango gwa Geoffrey Lutaaya eyali omubaka wa Kakuuto ng’awaabira, Ismail Lubega Kaka eyamusiguukulula mu kifo kino, kkooti yagwongezzaayo okutuusa nga October 15 okuwulira obujulizi.
Lutaaya alumiriza Ismail Lubega okwekobaana n'akakiiko k'ebyokulonda okumubba

Tags: