ESSOMERO lya Happy Years P/S School Kabuusu lyasitukidde mu ngule y’empaka za PASS PLE Quiz wa Bukedde ez’omwaka 2026, bwe lyawangudde amasomero gonna
50, ageetabye mu mpaka zino.

Abayizi ba Happy Years Primary School Kabuusu nga bajaganya n’abamu ku basomesa baabwe olw’okuwangula empaka za Pass PLE Quiz wa Bukedde. Wano nga bali n’omukung’aanya wa Bukedde Michael Mukasa Ssebowa (ku ddyo) ate mu nkoofiira ye mukung’aanya ow’oku ntikko owa Vision Group, Sidney Miria Babanga.
Empaka zaabaddewo ku Lwokuna ku ssomero lya Kitante P/S e Kamwokya.
Amasomero 6 ge gaatuuse ku mutendera ogw’akamalirizo okwabadde; One Heart Junior School Busiika, Happy Years Primary School Kabuusu, Brain Buttons Primary School Lungujja, Cosna Primary School Mityana ne Adonai Primary School nga lino lyakiikiriddwa omuyizi omu, Eric Fred Lumansi.
Amasomero gaawangudde engule ez’enjawulo nga Cosna lyawangudde mu Mathematics, Brain Buttons P/S lyawangudde mu Science, One Heart Junior Mityana lyawangudde mu English ate Happy Years ne liwangula mu SST era nga lye lyawangudde engule.

Abayizi ba Cosna Primary School Mityana nga bakutte engule gye baawangudde.
Yakubirizza amasomero okukola kiraabu za PASS PLE era ne yeeyama nti baakuziwagira.
Yasiimye abataddemu ensimbi okuli; Timnah Schools Luweero, Chapa General Enterprises n’eddwaaliro lya Gray Homles Hospital Maganjo.

Abayizi ba Timnah Schools Luweero nga bali n’omusomesa waabwe mu mpaka za Pass PLE e Kitante.
Kyokka yagumizza abo abagenze nga tebalina birabo bye bawangudde obutaggwaamu maanyi kubanga ensonga enkulu ey’empaka zino kwabadde kubateekateeka okuyita ebibuuzo bya PLE
Yakubirizza amasomero okwongera okwettanira olupapula lwa Bukedde olufulumya akatabo PASS PLE buli lwa Mmande n’Olwokuna kubanga kabeeramu bingi ebiteekateeka obulungi omuyizi n’asobola okuyitira waggulu ebibuuzo by’akamalaririzo.
Omukung’aanya wa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebowa yasiimye abavujjirizi b’empaka zino n’asiima amasomero agajjumbidde mu bungi wamu n’okukwata obudde. Hajji Yasin Kazibwe okuva mu Chapa General Enterprise, abamu ku baatadde ssente mu mpaka zino, yategeezezza nti babeerawo okuvujjirira empaka zino era okuva bwe baatandika enjawulo weeri olw’ensonga nti abayizi bano be ba ambasada abasinga okubakubira akalango k’ebintu byabwe.