Amawulire

Abaawangudde empaka za Quiz wa Bukedde bajaganya

ESSOMERO lya Happy Years P/S School Kabuusu lyasitukidde mu ngule y’empaka za PASS PLE Quiz wa Bukedde ez’omwaka 2026, bwe lyawangudde amasomero gonna50, ageetabye mu mpaka zino.

Abamu Abasomesa abaabuuzizza abayizi ebibuuzo nga bakutte ebirabo ebyabaweereddwa aba Chapa General Enterprises abaakulembeddwa Hajji Yasin Kazibwe (ku kkono).
By: Bya EMMANUEL SSEKAGGO, PATRICK KIBIRANGO NE VIVIEN NAKITENDE, Journalist @New Vision

Abayizi Ba Brain Buttons Primary School Lungujja Nga Balaga Engule Gye Baawangudde Mu Ssomo Lya Science 1

Abayizi Ba Brain Buttons Primary School Lungujja Nga Balaga Engule Gye Baawangudde Mu Ssomo Lya Science 1

Abamu ku baatadde ssente mu mpaka zino, yategeezezza nti babeerawo okuvujjirira empaka zino era okuva bwe baatandika enjawulo weeri olw’ensonga nti abayizi bano be ba ambasada abasinga okubakubira akalango k’ebintu byabwe.

Hajji Yasin Kazibwe (ku Kkono) N’abamu Ku Bayizi B’essomero Lya Mbale City Kindergarten And Primary School N’omusomesa Waabwe

Hajji Yasin Kazibwe (ku Kkono) N’abamu Ku Bayizi B’essomero Lya Mbale City Kindergarten And Primary School N’omusomesa Waabwe

Yasabye ab’amasomero okulaba nga bettanira ebintu byabwe okuli ssabbuuni ow’obuwunga, ow’omuti, butto, Toss, Nala noodles n’ebirala.

Aba Chapa ng’oggyeeko okussa ssente mu mpaka zino era baagabidde abazze ebirabo ebiwera okwabadde siyaagi, noodles, ssabbuuni ayoza n’anaaba n’ebirala.

Abayizi Ba Kitante Primary School Mu Mpaka Za Pass Ple

Abayizi Ba Kitante Primary School Mu Mpaka Za Pass Ple

Ate Isaac Ainomugisha okuva mu Timnah Schools e Luweero, yeebazizza Bukedde olw’okussaawo empaka zino eziyamba okuteekateeka abayizi okuva mu bintundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ategeeza nti baakwongera okutambula ne Bukedde.

Abayizi Ba Brain Buttons Primary School Lungujja Nga Balaga Engule Gye Baawangudde Mu Ssomo Lya Science

Abayizi Ba Brain Buttons Primary School Lungujja Nga Balaga Engule Gye Baawangudde Mu Ssomo Lya Science

Kenetth Mulekwa omusomesa wa P.7 ku ssomero lya Happy Years P/S e Kabuusu, abaawangudde empaka yalaze essanyu olw’obuwanguzi n’asiima dayirekita w’essomero lyabwe, abayizi abaabakiikiridde n’abasomesa banne abateeseteese abayizi.

Aba One Heart Heart Junior School Busiika N’engule Gye Baawangudde Mu English

Aba One Heart Heart Junior School Busiika N’engule Gye Baawangudde Mu English

Tags:
PASS PLE Quiz wa Bukedde ez’omwaka 2026
Chapa
Vision Group
Vision Group Don Wanyama

Emboozi Ezifanagana