Amawulire

Kkooti ewadde Nambooze amaanyi mu gw’okulonda

KKOOTI ewadde Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) amaanyi bw’egobye obumu ku bujulizi obubadde buleeteddwa mu musango gw’obululu ogumuvunaanibwa.

Mulyanyama ng’ayogerako eri bannamawulire nga yaakava mu kkooti.
By: Bya KIZITO MUSOKE, MARGRET ZALWANGO, EDWARD LUYIMBAAZI NE SAMUEL KANYIKE, Journalist @New Vision

KKOOTI ewadde Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) amaanyi bw’egobye obumu ku bujulizi obubadde buleeteddwa mu musango gw’obululu ogumuvunaanibwa.

Mu nsala eyaweereddwa omulamuzi, Godfrey Himbaza, owa kkooti enkulu e Mukono ku Lwokuna yagobye obumu ku bujulizi obwabadde buleeteddwa okumulumiriza okwabadde obutambi n’ebiwandiiko wadde ng’obumu baabukkirizza.


Omulamuzi yagobye obujulizi obwabadde buleeteddwa omuwaabi, Daisy Ssonko Sarah Nabatanzi, n’ebirayiro by’abajulizi be okuli obwa Patrick Musoke ne Faridah Nalubowa bwe yagambye nti bwabadde tebutuukana na mutindo gwa tteeka lya Commissioners for Oaths (Advocates) Act.


Mu mbeera eno yagobeddemu n’obujulizi bwe baabadde baleese okuli obutambi, ebiwandiiko awamu n’ebiwandiiko ebyabadde bikyusiddwa mu Lungereza oluvannyuma lwa kkooti okukizuula nti bwabadde bukontana n’etteeka erifuga ebiweerezebwa erya Electronic Transactions Act.


Obujulizi bwa Patrick Musoke bwonna bwagobeddwa nga kkooti egamba bwabadde tebwetaagisa ku musango ate nga bwabadde tebutaputiddwa bakugu nga bwe kirambikibwa mu tteeka lya Illiterates Protection Act.


Kyokka obujulizi obulala obwaleeteddwa oludda oluwaabi bwakkiriziddwa era bugenda kweyambisibwa ng’obujulizi mu kuwoza omusango. Tewali ludda lwalagiddwa kuliyirira lunnaalwo.


Nabatanzi owa NRM yafuna obululu 6,683 mu kulonda okwaliwo nga January 15, 2026 ate Nambooze owa NUP n’awangulira ku bululu 21,070.

Mu mpaaba ya Nabatanzi agamba Nambooze ng’omuntu n’okweyambisa abantu baawadde olukusa , yakola ebintu bingi ebitakkirizibwa mu kulonda omwali okugulirira abalonzi, n’okukola efujjo awamu n’okutiisatiisa.

Betty Nambooze

Betty Nambooze


Omusango bwe gwatandika okuwulirwa, munnamateeka wa Nambooze, Medard Lubega Sseggona yawakanya obumu ku bujulizi obwali buleeteddwa ng’okuba nga bwaddibwamu kikeerezi, ebirayiro ebyakubwa nga tebigoberera mateeka, obutambi obwaggyibwa ku mukutu gwa Youtube ne Tivi nga tewali bukakafu oba nga tebwakyusibwamu.


Sseggona era agamba nti waliwo obujulizi obupya obwaleetebwa obulimu okugulirira abalonzi obutali mu mpaaba y’omusango eyasooka.
Munnamateeka wa Nabatanzi, Ahmed Kalule Mukasa, yabadde agamba nti etteeka lya Civil Procedure Rules libakkiriza okuwa obujulizi ekiseera kyonna nga n’ebitakwatagana mu bujulizi byabadde bisobola okutereezebwa.


Omulamuzi, Himbaza yagambye nti oludda oluwaabi i lwalemeddwa okulaga obujulizi obwaleeteddwa gye bwakolebwamu, okuterekebwa n’okulaga nti butuufu kuba eyabukwata yabadde taleese biwandiiko bigenderako.


Obujulizi bwa Musoke bwagaaniddwa kuba tebwabaddeko mannya ga mutaputa mu bujjuvu wadde gy’asangibwa nga kino kiriko n’ensala ya kkooti ensukkulumu eyakolebwa mu musango gwa Wasswa Robert Kigayaza v Kakooza Jonathan. Kyokka era obujulizi bwabadde bulaga bawagizi b’omuntu atali mu musango nga tebwetaagisa.


Kyokka obujulizi obulala okuli obwokugulirira abalonzi bwakkiriziddwa mu kkooti era omusango omukulu gugenda kwongera okuwulirwa .


MULYANYAMA AFUNYE AKASEKO
Ali Kasirye Nganda Mulyanyama (Makindye East) akyajaganya olw’obuwanguzi bwe yatuseeko gye buvuddeko, kkooti bwe yagobye okusaba kwa Judith Abaho (NRM) eyabadde awakanya ekyakakiiko k’ebyokulonda okumuwandiisa mu bukyamu nga talina biwandiiko bituufu.

Mulyanyama Ng’ayogerako Eri Bannamawulire Nga Yaakava Mu Kkooti

Mulyanyama Ng’ayogerako Eri Bannamawulire Nga Yaakava Mu Kkooti


Wadde ng’omusango gwennyini tegunnasalibwa, kyokka enkambi ya Mulyanyama bakyajaganya nga bagamba nti ke baawangudde lawundi esooka n’eyookubiri bajja kugiyitako.


NYANZI ALEMEDDEKO, AYAGALA KULEETA BAJULIZI BALALA.

Bannamateeka ba Fred Nyanzi Ssentamu nga bakulembeddwa Robert Rutaro basabye kkooti ebakkirize bongeremu ku bajulizi baabwe bawere 10 ekyawakanyiziddwa bannamateeka ba Madinah Nsereko n’abakakiiko k’ebyokulonda abakulembedwa Mwesigwa Rukutana, Ahmed Kalule ne Abubaker Kayondo ne bagamba nti obudde bwabaggwaako dda.


Baasabye kkooti egaane okusaba kwabwe kubanga obudde baali babulina kyokka ne balemwa okussaamu bye baagala nga mukissre akino tekikkrizibwa.
Rutaro yagambye nti empapula za Nyanzi okuli obubonero zanjawulo nnyo n’ezaakakiiko k’ebyokulonda ze baabawa naye ate omulamuzi yagobye okusaba kwabwe kwe bassaamu nga baagala akakiiko kaabwe origino.


Bali wa mulamuzi Shamilah Faridah Bukirwa era ajja kuwa ensala nga October,6,2026 ,olwo omusango guddemu okusomwa nga October,7,2026.


Mu musango wasoose kubaawo kuwaanysiganya ebisongovu wakati w’abawagizi b’enjuyi zombi nga buli bamu balangira abalala obubbi, bano baavudde ku nsala y’omulamuzi gye yawadde ng’agaana okulagira akakiiko k’ebyokulonda okuwa Nyanzi ebiwandiiko kwe baasinziira okulangirira Nsereko ku buwanguzi.


E LUWEERO BALINZE NSALA YA KKOOTI
Omulamuzi Vincent Emmy Mugabo awadde ennaku z’okusalirako emisango egy’awaabwa abaawangulwa mu kalulu k’ababaka abakyala mu disitulikiti ya Luweero ne Nakaseke.

Brenda Nabukenya

Brenda Nabukenya

Agnes Kirabo Nantongo (NRM) yawawaabira Brenda Nabukenya (NUP) n’akakiiko k’ebyokulonda okumubba obululu ate Ester Nakawooya (NUP) yawawaabira Sarah Najjuma (NRM) n’akakiiko k’ebyokulonda okumulemesa okuwangula mu kulonda kw’ababaka abakyala.


Ogwa Najjuma ne Nakawooya gusalwa nga Nov 10 ate ogwa Nabukenya ne Kirabo gusalwa Nov 6, 2026 ng’omulamuzi yagambye agenda kukikola ku mutimbagano.

Sarah Najjuma

Sarah Najjuma


Kirabo awolerezebwa bannamateeka; Ismail Kibirige ne Swabul Mpungu ate Nabukenya awolerezebwa Caleb Alaka, Paul Kakande ne Lydia Nakyejwe ate Nasser Serunjogi ne Alex Kamukama ba kakiiko ka bya kulonda.


Nakawooya naye awolerezebwa Caleb Alaka, Paul Kakande ne Lydia Nakyejwe ate Najjuma yaleese Asuman Basaalirwa, Babra Tutebenderwa ne Asiimwe okumuwolereza.
Enkambi ya Najjuma bagamba nti obumu ku bujulizi obwali bubatiisa bwagobwa era bamanyi bajja kuwangula omusango.


KIMAANYA KABONERA
Omulamuzi Joyce Kavuma agobye okusaba okubadde kuteereddwaayo Patrick Kuteesa ng’ayagala kooti egobe omusango gw’ebyokulonda, Robert Asiimwe gw’ayagala okumusuuza ekifo kya Kimaanya Kabonera.


Kuteesa ng’ayita mu munnamateeka we Jude Byamukama yabadde ataddeyo okusaba ng’agamba nti omusango gwesigamiziddwa ku bulimba n’ekkobaane eryakolebwa akakiiko k’ebyokulonda n’omuwaabi.


Ono agamba nti Asiimwe mu mpaaba ye yeeyambisa empapula enjingirire okuva mu bifo mukaaga by’agamba nti kwe yawangulira ate akakiiko ne kabisuula ku bigambibwa nti waaliyo emivuyo.


Omulamuzi bw’abadde agoba okusaba kuno ategeezeza nti oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obulaga ekkobaane wakati wa Asiimwe n’akakiiko k’ebyokulonda n’agamba nti buli ludda lw’esasulire ensaasaanya.


Omusango guno gwakutandika okuwulirwa nga October 10 nga balagidde enjuyi zombi okufuna abakugu okwekkenneenya ebyava mu kulonda mu bifo 6 ebiriko enkalu.

Tags:
Betty Nambooze
KKOOTI
Mukono
Electronic Transactions Act.