EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga kiweze ebyokunywa ebiyiise ku katale omuli ekirungo eky’obulabe ekifaanana ‘Viagra’ ne kirabula Bannayuganda naddala abasajja ababyekatankira nga banoonya okufuna ‘Waaka’ mu buliri.
Okusinziira ku kunoonyereza, Rwamwiri agamba nti, abasajja bangi abettanidde eby’okunywa bino mu butamanya tebamanyi nti, bya bulabe eri obulamu bwabwe, kubanga eddagala lya ‘Sildenafil’, likozesebwa okujjanjaba obulwadde bw’abasajja abatasituka bulungi, naye ng’okulikozesa abasawo balina okumala okwekebejja omubiri gwo, okulaba oba gusobola okuliwanirira.
Eky’okunywa kino era baazudde nti, kiva mu ggwanga lya Congo, era abakitumbula mu Uganda bagamba nti, kiyamba abasajja okuzannya eddakiika 90 nga bali mu kisaawe, ekisikiriza abasajja bangi okukyettanira, nga baagala okukakasa abaagalwa baabwe.
Enkozesa embi ey’eddagala lino, Rwamwiri yagambye nti, evaako endwadde endala omuli puleesa, kammunguluze, ekifu ku maaso, n’okwewanika okumala ebbanga eddene mu basajja abalikozesa, n’endwadde endala.
Abantu abanywedde ku ky’okunywa kino, ne batuuka ne bafuna obubonero bwa Puleesa, kammunguluze, ekifu ku maaso, n’ebirala, badduke mangu mu ddwaaliro bafune obujjanjabi, ng’embeera tennasajjuka.
Yakubirizza abantu nti, bwe basanga eky’okunywa kino mu bbaala oba mu maduuka batemye ku kitongole kya NDA oba Poliisi, basobole okubibowa bive ku katale.
Ye avunaanyizibwa ku by’okulung’amya akatale k’eddagala mu NDA, Brain Ssekayombya, yagambye nti, eby’okunywa bingi ebiri ku katale, ng’ababikola baafuna olukusa okuva mu bitongole ebirala, kyokka bwe batuuka ku katale nga baagala okutunda ennyo, balanga beewaana nti, eby’okunywa ebyo birina endwadde ze bijjanjaba, ekintu ekitali kituufu.