ABAKULIRA yunivasite ez'enjawulo baagala gavumenti ekola ennongoosereza ku myaka bapulofeesa kwe balina okuwummuliranga .
Baagala emyaka gino girinnyisibwe okuva ku 60 okudda ku wakiri 70 oba 80 nti awo eggwanga naddala abayizi we bajja okusobola okubaganyulwamu obulungi.
Yategeezezza nti kyannaku nti bapulofeesa naddala mu matendekero aga gavumenti we bakugukira ennyo ate we babagambira nti bawummule olw'ensonga nti amateeka g'eggwanga gakirambika bulungi nti buli mukozi wa gavumenti ateekedwa okuwummulira ku myaka 60 .
Nga bwe kiri e Kenya n'ensi endala nti bapulofeesa bawummulira ku myaka 70 okudda waggulu ne wano mu ggwanga bwe basaba kibeere kubanga bateekamu kingi okufuna obukugu buno n'olwekyo kisaanidde babugabaneko ekimala n'abayizi ku yunivasite .

Akulira yunivasite ya Kampala international yunivasite pulofeesa Mohammed Ngoma bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala
Mungeri yeemu Kampala international yunivasite ya yanjude enteekateka ey'okuzimba eddwaliro lya kookolo ,erijjanjaba emitima newebalongoseza abalwadde b'obwongo nga bibaliridwa okuwementa ssente obukadde 60 eza ddoola za Amerika nga ebitundu 30 kuzino zakuvugirirwa European Union .
Enteekateeka eno nga yakutandika mu bbanga lya myaka 5 okuva leero basuubira nti yakuteeka ettofaali ddene ku by'obujjanjabi bw'eggwanga.
Wansi w'omulamwa oguvuga nti "okuteekateka abayizi abanabera ab'omuganulwo eri eggwanga nemubitundu gyebawangalira" yunivasite eno yakujjaguza amattikira gaayo ag'omulundi ogwa 34 nga 21 November 2026 mu distulikitti y'e Bushenyi ku ttabi lyabwe erya KIU Western Campus mu Ishaka.