Omusajja agambibwa okwefuula akulemberamu abalambuzi okubatambuza , okubafunira aw’okusula n'okupangisiriza emmotoka kyokka n'ababba, akwatiddwa poliisi.
Kigambibwa nti ono abadde yaggulawo kkampuni ez’ekifere omuli FK car Rental company, Kim Quinn, Becky, ne Habimana nti olwo n'abba abalambuzi nga ssente baziyisa ku mobile money ne mu banka.
Kyaddiridde munnansi wa Russia okuloopa mu Uganda Tourism Board nga Aug 16 nga bamubbye ddoola 2,215 nga bamulimbye okumufunira emmotoka egenda okumutambuza okuva mu FK Car rentals.
Kitegeezeddwa nti olwamala okusasula, website n'eggyibwako ne nnamba zonna ezaaliko ne baziggyako.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ono abadde akuba ebirango omuli n'okulimba nti agaba Gorilla permits, Safaris and 4x4 vehicles hire n'ebirala.
Ono yakwatiddwa nga wiiki ewedde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde era bayigga bonna b’abadde akola nabo n'okuzuula ssente z'agambibwa okujja ng'abba era Kituuma n'asaba abo bonna abbiddwa, okugenda ku poliisi e Katwe.