Amawulire

Loole eremeredde omugoba waayo n'esaabala emmotoka 7 n'etta 3 e Sheema!

ABANTU 3 bafudde n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Kabwohe Sheema. 

Loole eremeredde omugoba waayo n'esaabala emmotoka 7 n'etta 3 e Sheema!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 3 bafudde n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Kabwohe Sheema.

Emu ku mmotoka ze baagoyezza.

Emu ku mmotoka ze baagoyezza.

Kigambibwa nti emmotoka Isuzu Box body nnamba UA 234 DK ebadde etisse ebinazi ng'eva Bushenyi okudda e Mbarara  n’eremerera ddereeva waayo n'etomera abeebigere babiri n'oluvannyuma n'erumba emmotoka endala 7 ne pikipiki emu n'egwira ennyumba, omubadde abantu.

Emu ku mmotoka Sienta eyakoseddwa.

Emu ku mmotoka Sienta eyakoseddwa.

Omu ku basatu abafudde, ye dedreeva w'emmotoka eno era ng'emmotoka ezitomeddwa, kuliko UAV 834R Raum, UA 538EG Sienta , Wish nnamba UBN 195 Y, Range Rover nnamba UAP 900L , AU 601DG Seinta, UAZ 141 M Premio ne ppiki UFA 859M.

 

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agamba nti abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaliro lya Kabwohe Health centre IV okufuna obujjanjabi

Tags:
Sheema
Loole
Kusaabala
Bantu
Kulemerera