🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Abatta omusuubuzi e Masaka omu bamukalize emyaka 50 omulala emyaka 35

Abatta omusuubuzi e Masaka omu bamukalize emyaka 50 omulala emyaka 35

Abakaligiddwa nga bali mu kkooti e Masaka
By: Phiona Nanyomo, Journalist @New Vision

Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu akalize abasajja abatta omusuubuzi w'e Masaka.

 Alex Makandya eyakuba omugenzi embazzi ku mutwe akaligiddwa emyaka 50 nga omulamuzi ategeezezza nti Ono ebbanga ly'amaze ng'awerennemba n'omusango talazeeko kwenenya kwonna olw'ekikolwa kyeyakola wabula nga abadde akola gwa kwegaana so nga banne babadde bamulumirizza nti yenyini yeyakuba omugenzi embazi ku eyamuviirako okufa.

Ronald Lutaaya naye akaligiddwa emyaka 50 nga omulamuzi ategeezezza nti Ono yali mukwano gw'omugenzi nfaanfe wabula nga yalemererwa okukuuma obwesige omugenzi bweyamusamu n'asalawo okukulemberamu olukwe olumutta.

Samuel Twinomuguni amanyiddwa nga Mukiga ye omulamuzi amukalize emyaka 35 nga yeyakola nga dereva era nga Omulamuzi ategeezezza nti Ono okuweebwa ekibonerezo kino kiddiridde okubeera omukamamu eri kkooti n'abenganda z'omugenzi ate nga mweteefuteefu okuwa obujulizi bwonna obuluma mwanyina w'omugenzi Ali Ssemanda ne mukyalawe Zaharah Nsubuga nabo abakwatibwa ku bigambibwa nti bebaali emabega w'ettemu eryakolebwa ku mugenzi olw'enkayana z'ekibanja zebalina.

Tags: