ABAANA babiri abawala ab'emyezi esatu, bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba ey'embaawo mwe babadde babeebasizza.
Omuliro era , gusaanyizzaawo ennyumba endala 12 n'ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi, ne bitokomoka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyanoonyereza okuzuula ekivuddeko omuliro era n'akubiriza abantu okubeera abeegendereza ennyo , okusobola okwewala omuliro.