🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Muninkini wa Moses Matovu si waakuvunaanibwa

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu, Lino Anguzu, atangaazizza ku mukazi Rose Tusiime, eyavaako okuttibwa kw'omuyimbi Moses Matovu, nti tagenda kuggulwako musango gwonna.

Poliisi lwe yakwata Tusiime eyavaako okuttibwa kw'omuyimbi Moses Matovu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu, Lino Anguzu, atangaazizza ku mukazi Rose Tusiime, eyavaako okuttibwa kw'omuyimbi Moses Matovu, nti tagenda kuggulwako musango gwonna.
Matovu, eyali owa Afrigo band, yattibwa nga September, 24, 2026, mu zooni ya Kibuli Market, mu divisoni y'e Makindye, nga kigambibwa nti yattibwa agambibwa okuba muganzi wa Tusiime, ayitibwa Arnold Nsamba.

Anguzu yannyonnyodde nti, Tusiime agenda kukozesebwa ng'omujulizi omukulu era y'ajja okukozesebwa okulumiriza Nsamba mu butemu buno, ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse.
Omuwaabi wa Gavumenti okuvaayo, kiddiridde okwemulugunya okubaddewo mu bantu nga beewuunya lwaki omukazi eyavaako obuzibu obwaleetera Matovu okuttibwa ate bwe yalabikako ku kkooti nga September, 28 2026, teyayingizibwa mu kaguli nga bwe gwali ku muganzi we Nsamba.
Nsamba yasomerwa emisango gy'obutemu era n'asindikibwa ku meere e Luzira, wakati mu bukuumi obw'ekitalo, gy'anaava addizibwe mu kkooti nga November, 3, 2026.
Anguzu okwogera bino, yabadde mu nsisinkano n'abaamawulire, ng'ekitongole ky'akulira kikuba ttooci mu buweereza bwakyo mu myaka etaano egiyise n'okusala entotto ku ngeri gye kiyinza okwongera okutumbula obwenkanya mu kkooti eri Bannayuganda.

Tags: