OMUVUBUKA agambibwa okufumita omuvuzi w’emmotoka za Sipeeso e Nateete asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo emusomedde ogw’obutemu n’asindikibwa ku limanda e Luzira.

Sinan eyakwatiddwa
Kigambibwa nti nga Semptember 30,2026 mu zzooni ya Central A e Nateete, Muwonge ng’abagalidde ekiso, yakkira emmotoka ya Twase ekika kya Noah UBL 731X mwe yali awummuliddeko n’amufumita mu kifuba n’amuleke ng’ataawa ye n’agezaako okuguUmaza embiro.
Ku ssaawa nga 12:30 ez’olweggulo okumpi n’ebitaala by’e Nateete bino we byatuukiddewo era abaamulabye ne batandika okumugoba okuKkakkana ng’akwatiddwa ate ye Twase n’addusibwa mu ddwaliro e Lubaga nga bali ku taasulewo taasiibewo ebyembi n’afa!
Oluvannyuma lw’okukwatibwa, Muwonge yakwasiddwa poliisi y’e Nateete gye yagguliddwako ogw’obutemu ku ffayiro CRB; 1035/2026. Bano nabo baamusindise mu kkooti e Mengo gye yavunaaniddwa omusango gwe gumu oluvannyuma n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.
Mu kkooti, omulamuzi yamugaanyi okubaako ne ky’ayogera olw’okuba omusango ogumuvunaanibwa gwa nnaggomola nga kkooti ye terina buyinza buguwulira okuggyako kkooti Enkulu.
Twase 73, abadde muvuzi wa mmotoka z’obwannannyini ezipangisibwa okusaabaza abantu, omutuuze w’e Bulaga Ssumbwe mu Wakiso era gye yaziikiddwa.