🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Ggaasi ayabise n'asesebbula bamakanika 2 ababadde bamukozesa okwokya ekyuma ne bafiirawo!

ABANTU 2 bafudde n’abalala basatu ne baweebwa ebitanda nga bali bubi, sirinda ya ggaasi bw’eyabise n’ebasesebbula e Lira.

Ggaasi ayabise n'asesebbula bamakanika 2 ababadde bamukozesa okwokya ekyuma ne bafiirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 2 bafudde n’abalala basatu ne baweebwa ebitanda nga bali bubi, sirinda ya ggaasi bw’eyabise n’ebasesebbula e Lira.

Abatuuze nga bakung'aanye okwetegereza bannaabwe abaafudde!

Abatuuze nga bakung'aanye okwetegereza bannaabwe abaafudde!

Bibadde Ireda Central Park mu kibuga Lira, ggaasi bw’ayabisse n’atta bamakanika babiri n’okulumya abantu abalala basatu.

Abafudde, kuliko James Okabo n’omulala ategeerekeseeko erya Daniel kyokka ng’abalumiziddwa, tebannategeerekeka bibakwatako .

Kitegeezeddwa nti ababiri, babadde bakanika pikipiki nga baliko bye bookya, ggaasi n’ayabika n’abattirawo n’abalala basatu ababadde mu katale akaliraanyeewo ne bakosebwa byansusso olw’ebipapajjo okubakuba.

Ppiki gye baabadde bakanika

Ppiki gye baabadde bakanika

Omwogezi wa poliisi mu North Kyoga , Patrick Okema , agambye nti waliwo ne ttuleera ebadde esimbye ku mabbali , nnamba UA 732DX nayo eyonoonese.

Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Lira n’abakoseddwa, nabo batwaliddwa mu ddwaliro ly’erimu okufuna obujjanjabi, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Ggaasi
Sirina
Kukozesa
Bamakanika
Ppiki
Kwokya