Amawulire

POLIISI y'ebidduka ekutte emmotoka za Taxi 47 ezibadde zitikkira ku luguudo lwa Nothernpass.

POLIISI y'ebidduka ekutte emmotoka za Taxi 47 ezibadde zitikkira ku luguudo lwa Nothernpass.  Okusinziira ku mwogezi wa poliisi y'ebidduka Kananura ategeezezza abagoba ba Taxi 12 batwaliddwa mu kkooti, ate Jusanvu ne bateebwa ku kakalu ka kkooti, ate abalala 28 baliira ku nsiko.

POLIISI y'ebidduka ekutte emmotoka za Taxi 47 ezibadde zitikkira ku luguudo lwa Nothernpass.
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

POLIISI y'ebidduka ekutte emmotoka za Taxi 47 ezibadde zitikkira ku luguudo lwa Nothernpass.  Okusinziira ku mwogezi wa poliisi y'ebidduka Kananura ategeezezza abagoba ba Taxi 12 batwaliddwa mu kkooti, ate Jusanvu ne bateebwa ku kakalu ka kkooti, ate abalala 28 baliira ku nsiko.

Kananula asabye bannanyini mmotoka okutwala emottoka zaabwe mu Garagi kuba   ennaku 100 ezabaweebwa zaawedeko. Kananura agamba nti  tebasuubira mmotoka zitatukagana na mutindo gwetaagisa ku sigala nga zisaabaza abantu ku ngudo.

Kananura alabudde abagoba be mottoka ennene ezimanyidwa nga sino truck nti ennaku 60 ze baweebwa zibulako ennaku 4 olwo Poliisi etandike okubakwata bavunaanibwe.    Kananura agamba nti ebikwekweto ebikolebwa bigederedwa okulaba nga bakendeeza obubenje ku ngudo. Kananura asabye abagoba b'ebidduka okukolagana n'abasirikale be biduuka era mu mneri yeemu  akubirizza abantu obutavuga ndiima mu biseera bye nkuba era n'asaba abagoba okulekawo ebbanga eddene wakati we mottoka

Tags: