Amawulire

UNEB eyungudde abaserikale 600 okukuuma ebigezo byayo okwetooloola eggwanga

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga, kiyungudde abaserikale 600 n'abasikawutu 2,000, bayambeko mu kukuuma ebigezo by'abayizi ba S4 , ebitandise leero mu ssenta 4,314 okwetooloola eggwanga.

UNEB eyungudde abaserikale 600 okukuuma ebigezo byayo okwetooloola eggwanga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga, kiyungudde abaserikale 600 n'abasikawutu 2,000, bayambeko mu kukuuma ebigezo by'abayizi ba S4 , ebitandise leero mu ssenta 4,314 okwetooloola eggwanga.

Abayizi abeewandiisa bali 503,033 nga ku bano 264,722 bawala ate 238,333 balenzi ate nga abayizi 906 baliko obulemu era nga bo, bayambiddwa mu ngeri ezitali zimu, okusobola okuwandiika ebigezo byabwe obulungi.

Omwogezi w'ekitongole kino, Jennifer Kalule Musamba, alabudde abo bonna abagezaako okwenyigira mu kubba , oba okubbira abayizi abigezo, nti baakukwatibwa bavunaanibwe.

Agasseeko nti okusinziira ku mateeka, omuntu bwe gumusinga, asobola okuliwa obukadde 40 oba okusibwa emyaka egitasussa 10  oba byombi.

Annyonnyodde nga bwe waliwo akabinja k'abantu abataddewo whats pp groups okubuzaabuza abayizi nga babalimba nti balina obusasi, n'abagamba nti basaana okuzivaamu amangu nga tebannakwatibwa.

Tags:
UNEB
Ggwanga
Bigezo
Kuyungula
Kukuuma bigezo