SSENTEBE wa disitulikiti y'e Bugweri omulonde Hamidu Kimark ate era nga munnakibiina kya NUP byongedde okumwonoonekera ate era bw'azzeemu n'atwalibwa mu mbuga z'amateeka ku bigambibwa nti yalyazaamaanya bwe yeewola ssente ezisoba mu bukadde 250 n'alemererwa okuzisasula .
Ono nga yaggyiddwa buterevu okuva mu kkomera e Luzira gy'amaze ekiseera ku misango emikadde gye yazza, yaleeteddwa mu maaso g'omulamuzi Patricia Asiimwe owa kkooti y'eby'obusuubuzi ku musango omupya ogwokulemererwa okusasula ssente za Lawrence Kabwama.
Mu kkooti enjuyi zombi okwabadde olw'avunaanibwa n'eyaloopa basabiddwa okuteekamu obujulizi bwabwe nga buno omulamuzi waakwongera okubwetegereza ate oluvannyuma alambika ennaku z'omwezi kw'anaatandikira okuwulirira omusango guno.
Ssentebe yazziddwayo mu kkomera e Luzira eno gyali ku musango gw'okufera Omuchina ssente ezisoba mu buwumbi 3 .