ABAZIGU abatannategeerekeka batemyeko eyali munnamagye wa Rwanda omutwe, ekiwuduwudu ne bakisuula ku nsiko.
Muganda w'omugenzi ategeerekeseeko erya Oscar yategeezezza nti omugenzi yakedde kumunoonya mu maka ge e Luwala nga taliiyo.
Mu ttuntu yafunye essimu okuva ku ew’atwala ebyokwerinda ku kyalo nti balabye omulambo ogutannategeereka kwe kusitukiramu n'asanga nga Kabeera ye yattiddwa.
Baatemezza ku poliisi y’e Kammengo ne batuuka ewasuuliddwa omulambo ne bagwekebejja ne basangawo engatto ze n'essaati ye ng'ebunye omusaayi.
Omulambo gwa Kabeera gwasangiddwa gwasaliddwaako n’olugalo olumu era nga we gwasuuliddwa waabaddewo ensiitaano.
Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe yategeezezza nti omugenzi yavudde e Kampala akawungeezi k'Olwokutaano n'alinnya boda emutwale mu maka ge n'abissaayo, olwo boda y'emu n'emutwala ku bbaala okumpi n'ewuwe.
Zaabadde ssaawa nga 1:00 ez'akawungeezi. Ku ssaawa 3:00, yazzeeyo awaka n'anona essimu ye n'addayo mu bbaala. Ku ssaawa 6:00, yatutte emmere ewuwe ate n'addayo mu bbaala era we baakomye okumulaba.
Abooluganda lwe baagenzeeko ku bbaala gye yabadde anywera ne babuuza omu ku bakolamu eyabategeezezza nti yavuddewo ekiro n'agenda. Poliisi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD: 21/17/10/ 2026, omulambo ne gutwalibwa e Mulago.