Amawulire

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Kagoma

Kitalo! Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte essomero lya Hami Junior School e Kagoma mu zzooni y’e Maganjo B, mu diviizoni y’e Nabweru.  Omuliro gusse Lamia Namusoke 8, abadde asoma P1 ne Abdul Shakul Bwete 10, owa P4.

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Kagoma
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Kitalo! Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte essomero lya Hami Junior School e Kagoma mu zzooni y’e Maganjo B, mu diviizoni y’e Nabweru.  Omuliro gusse Lamia Namusoke 8, abadde asoma P1 ne Abdul Shakul Bwete 10, owa P4.

 

Kigambibwa nti ekisulo kibadde kyassibwamu embaawo okukyawula ku birala, ekyanguyirizza omuliro okulanda amangu awalala ne gutta n'okulumya abaana.

 

 Abalala basatu balumiziddwa kw’ossa ebintu ebiwerako ne bibengeyeza mu muliro ogw'emirundi esatu ogukutte e Kagoma, Nansana ne Nsambya mu kiro ekikeesezza leero.

 

Omuliro omufiiridde abaana, gukutte essomero lya Hami Junior School e Kagoma , Maganjo B zzooni mu Nabweru division . Kigambibwa nti gutandikidde mu kisulo ky'abalenzi ne gutta Lamia Namusoke 8 ng'abadde asoma P1 ne Abdu Shakul Bwete 10 owa P4.

 

Abalumiziddwa abasatu, kuliko Yusuf Alcham Muyingo, 13 owa P.7, Hamidu Muyimba 9, P.3 ne Hasadu Kazibwe 7 owa P.1 era nga batwaliddwa mu ddwaaliro lya Bethel Medical Centre ate emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika e Mulago, okugyekebejja.

 

Kigambibwa nti ekisulo kibadde kyassibwamu embaawo okukyawula ku birala, ekyanguyirizza omuliro okulanda amangu awalala ne gutta n'okulumya abaana.

 

Ate omuliro omulala, gukutte Ivory Hotel e Nansana West 1B West Ward e Wakiso ne gwonoona ebintu ebiwerako nga kigambibwa nti kyandiba nga kivudde ku masannyalaze ku tulansifooma esoose okuvaamu omuliro.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, asaasidde abazadde b'abaana abafudde n'abalumiziddwa era n'asaba abaddukanya ebifo eby’enjawulo okubeera n'ebyuma ebizikiriza omuliro.

Tags:
Kagoma
Muliro
Ssomero
Kisulo