SIPAPA eggulo yatandise okwewozaako ne yeegaana emisango gy'okubba bannansi ba Sudan,agambye nti mukwano gwe ye yamulyamu olukwe bwe yalaba afunye ssente ne yeekobaana n’abatamwagaliza okumusibako obwakkondo.

Sipapa bwe yabadde awa okwewozaako kwe mu kkooti.
Sipapa agambye nti mu kiro ekya August 29,2022 olugambibwa okubaako obunyazi obuvunaanibwa, yali yagenze waabwe e Tororo kubanga waaliyo emikolo gy’okutuuza omukulembeze w’ennono ng’era yali agenda kugabira abantu abatalina mwasirizi bintu mu kitundu.
Sipapa ayongeddeko nti mu maka ge mwalimu kkamera ng’era zaakwata byonna ne bw’eba nzikiza nnyo, nolwekyo bwe baba baleeta okukakasa nti yayingira awaka we, n’essaawa ze yavaawo na byonna ebyaliwo byakwatibwa okukalaga nti n’essimu ze bagamba okuggya ewuwe tezaaliyo.
Sipapa agambye nti mukwano gwe Ssentongo Gyaviira amanyiddwa nga Uncle T ye yaluka olukwe okumukwata bwe yamanya nti alina ssente n’akolagana nabamu ku beebyokwrinda ne bamusibako emisango gy’atalina ky’agimanyiiko.
Ono era agambye nti omu Sudan Arok Makol agamba nti yabbibwa ,yalimba kkooti mbu ssente eyazifuna atunze ettaka ewaabwe.
Sipapa yabadde akulembeddwa munnanateeka we Suzan Wakabala n’abuulira kkooti nti ebyuma ebisala ebintu ebigumu bye basanga ewuwe yali abikozesa kusala miti n’okukanika mmotoka ze, wabula sikumenya nnyumba za bantu.
Omulamuzi Elubu yayongezzaayo omusango okutuusa wiiki ejja Sipapa amaleyo okwewozaako kwe.
Sipapa ne mukazi we Shamirah Nakiyemba bavunaanibwa obwakkondo ssaako okubuzaabuza ensibuko ya ssente n’okuzoozesaamu nga bakimanyi bulungi zaali zifuniddwa mu bumenyi bw’amateeka.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ekya August 29, 2022 ffamire ya munnansi wa sudan Arok Makol nga bali mu maka gaabwe e Buziga mu munisipaali y’e Makindye baazuukuka ne bazuula ng'ebintu byabwe okuli amasimu, laptop n’ebirala byali bibbiddwa nga nabo teebeewulira bulungi.
Abajulizi okuli ba poliisi baalumiriza nti baalumika essimu ezaali zibbiddwa ne zisangibwa mu maka ga Sipapa Mu Kityo Close e Buwaate mu munisipaali y’e Kira ng’eno poliisi gye yazuula ebintu eby’enjawulo ebigambibwa nti byali byafunibwa mu bumenyi bw’amateeka.