Amawulire

Maama asuddewo abaana 7 be yeezaalira n'aduuka!

ABATUUZE ku kyalo ky’e Lutunga muluka gw’e Buyiisa mu ggombolola y’e Kirumba mu disitulikiti y’e Kyotera bakedde kuyigga mutuuze munnaabwe eyasuula abaana abato mu nnyumba n’atambula era nga kati bamaze wiiki bbiri takomawo.

Maama asuddewo abaana 7 be yeezaalira n'aduuka!
By: John Bosco Mulyowa, Journalist @New Vision

ABATUUZE ku kyalo ky’e Lutunga muluka gw’e Buyiisa mu ggombolola y’e Kirumba mu disitulikiti y’e Kyotera bakedde kuyigga mutuuze munnaabwe eyasuula abaana abato mu nnyumba n’atambula era nga kati bamaze wiiki bbiri takomawo.

Nnaalongo Eyasuulawo Abaana.

Nnaalongo Eyasuulawo Abaana.

Balumiriza maama w’abaana bano, Nnaalongo Suzan Nakato okutulugunya abaana ng’omukulu yatuuka n’okumwokya obuveera ng’amulumiriza olugambo n’okumuloopanga mu batuuze nga bw’aleeta abasajja ab’enjawulo mu nnyumba.

 

Omu ku batuuze ye yalabye omwana ono ng’aleenya n’amabwa ku nga kwe kutemya ku ssentebe w’ekyalo Mulondo Francis Miiro eyasitukiddemu n’abatuuze ne balumba amaka ga Nakato.

 

Kigambibwa nti abaana bano Nakato yava Kampala nabo nga yabazaala mu basajja banjawulo, olwo n’ajja okufumbirwa ewa Deus Kafuuma. 

Abaana Nnaalongo Be Yasuula Mu Nnyumba.

Abaana Nnaalongo Be Yasuula Mu Nnyumba.

Kigambibwa nti Kafuuma yamusuulawo ng’abadde yeeyiiya n’abaana be.  Ku Lwokuna, abatuuze baakedde mu maka ga Nakato nga bakulembeddwa Ssentebe w’ekyalo kyokka tebaamusanzeewo.

 

Baasanze teyasuzeewo abaana ne bategeeza nti yagenze kiro oluvannyuma lw’abantu okumukubira essimu.

 

Ssentebe yategeezezza nti abaana bano batuuse mu myaka egisoma kyokka basiiba waka. Abatuuze balumiriza nti ono Nakato asomboola abasajja abenjawulo ne basisinkana mu nnyumba eno ne balwanirawo byonna ng’abaana balaba ne basaba poliisi emukwate avunaanibwe okutulugunya abaana.

 

Abalala baasabye abasajja bonna abalina abaana mu Nakato okubaddukira kuba basusse okutulugunyizibwa n’obulamu bwabwe buli mattigga kuba bafumbira mu nnyumba ekiyiinza okubaleetera okweyokya.

 

Ssentebe Mulondo Francis Miiro yatutte omwana eyayokeddwa mu ddwaaliro nga poliisi n’abatuuze bwe bayigga maama w’abaana yonna gye yeekukumye.

 

Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye akakasiza nti poliisi eyigga Nakato , era ng’agguddwaako omusango gw’okutulugunya abaana n’okwokya omu ku fayiro nnamba SD.06,21/10/2026. Omusango gwagguddwaawo ku poliisi y’e Kirumba mu disitulikiti y’e Kyotera.

Tags:
Nnaalongo
Baana
Kusuulawo