POLIISI e Kasangati ekutte abantu babiri abagambibwa okuwamba omwana ow'emyaka ebiri ne basaba abazadde ssente ate oluvannyuma ne bamutta.

Muhumuza eyakatiddwa.
Kitegeezeddwa nti omwana yabadde azannya ne banne e Kikuuma Kayebe e Gayaza , nti kwe kumuwamba.
Poliisi ekutte Joshua Muhumuza omusiizi wa cutekesi ne Florence Amusuguti , nti era Muhumuza n'abatwala mu nnimiro ya kasooli e Kyetume gye baasanze omulambo gw'omwana.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti basobodde okuzuula n'essimu kwe baabadde basabira ssente era nga mu kiseera kino, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago okugwekebejja ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.