Abatuuze balaajanidde Brig.Lukyamuzi ku bbulooka w'ettaka abakaabya akayirigombe
ABATUUZE ku kyalo Busaabala mu muluka gwe Bamusuuta mu ttawuni kkanso ye Naggalama mu disitulikiti ye Mukono bongedde okulaga obugambibwa okuba nga bwabatuusibwako bbulooka w’ettaka amanyiddwa Noordin Ssewanyana eyasenda ekibanja kyabwe mu ngeri ey’obukambwe.

Abatuuze ku kyalo Bamusuuta e Naggalama nga bali ne Brig. Lukyamuzi
Bino baabibuulidde akulira akakiiko k’ebyettaka Brig. Gen. Moses Lukyamuzi bweyabadde agenze ku kibanja kino okwongera okuzuuka ekituufu.
Ekibanja kino ekya ffamire y’omugenzi Muhamood Kivumbi kisangibwa ku kyalo Busaabala mu muluka gwe Bamusuuta mu ttawuni kkanso ye Naggalama mu disitukiti ye Mukono.

Abatuuze ku kyalo Bamusuuta e Naggalama nga bali ne Brig. Lukyamuzi
Kyokka Noordin Ssewanyana nga naye yabadde agenze ne Gen. Lukyamuzi ku kibanja kino ekiweza yiika 15, yagambye nti olw’okuba ffamire eno nene ddala, waliwo aba ffamire beyakwatagana nabo nebamuguza ekibanja kino nga takimanyi nti kiriko enkaayana.
Yayongedde okulayira nti newankubadde ekibanja kino yali yakigula, okuva enkaayana zino lwezaatandika teyakiddako nga ye nsonga lwaki aba ffamire baddamu n’okulimirawo emmere.

Abatuuze ku kyalo Bamusuuta e Naggalama nga bali ne Brig. Lukyamuzi
Gen. Lukyamuzi yabadde akyali ku ttaka lino, ate nezireeta Georgy Batte omutuuze ku kyalo Nalubabwe mu muluka gwe Bamusuuta mu disitulikiti ye Mukono naye n’alumiriza Ssewanyana nti yeekobaana ne ssenga bwe naye n’abatulugunya okuva ku ttaka lyabwe nga yatuuka n’okubasibya mu makomera. Kyokka Ssewanyana n’ono yamwegaanye ng’alumiriza nti waliwo abantu abateekateeka abantu bano mu bugenderevu boonone erinnya lye.
Gen. Lukyamuzi yagambye nti ekyemututte ku ttaka lino, yayagadde okwerabirako kw’ebyo ebyogerwa ku Ssewanyana abigerageranye ku bujjulizi abantu bwebabadde baleeta ng’abakugu kwebajja okwesigama bamuvunaane