Amawulire

Bwanamukulu  w’ekigo ky’e Nansana, Rev Fr, Cleophas Ssentamu awadde abagenda okutuula P7 amagezi

BWANAMUKULU w’ekigo ky’e Nansana, Rev Fr, Cleophas Ssentamu asomoozezza abayizi obutawaganyala olw’okuba balina omutendera gwe batuseeko, n'agamba nti balina kusigala ku mulamwa gw'obuwanguzi. 

Rev Fr, Cleophas Ssentamu ng'abuulira
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

BWANAMUKULU w’ekigo ky’e Nansana, Rev Fr, Cleophas Ssentamu asomoozezza abayizi obutawaganyala olw’okuba balina omutendera gwe batuseeko, n'agamba nti balina kusigala ku mulamwa gw'obuwanguzi.

Fr. Ssentamu yasinzidde ku ssomero lya Ronah Juniro School e Nansana bweyabadde asabira ssaako okuwonga abayizi ba P7 ku ssomero lino, Katonda asobole okubayamba okukola obulungi ebigezo byabwe ebyakamalirizo.

Okusabira abayizi ba P7

Okusabira abayizi ba P7


            “Mugenda kumaliriza ebigezo byammwe buli omu ensi emutwale wuwe, kyokka mbakuutira obutafuuka bakiwagi kuba olugendo lw’okusoma mutandika lutandike.

Musigale ku birooto byammwe bye mulubirira.” Fr Ssentamu bweyayongeddeko.
            Yayongedde n'asaba abayizi okwekwasa Katonda buli lwe banaayingira ekibuuzo ssaako obutetekako puleesa nga baddamu ebibuuzo kuba nti kin kiretedde bangi okuddamu ebibuuzo mubukyamu ate nga babadde babima

Ye omutandisi w’essomero lino, Ronald Mutesasira yasoomozezza abazadde obutatwala baana baabwe mu ndagu wabula bafube okubasabira kuba essomero likoze buli ekisoboka okulaba ng’abayizi bakola bulungi.

Omusomesa ng'azannya n'abaana

Omusomesa ng'azannya n'abaana

“Abazadde abamu bafuna okuwubisibwa ne batwala abaana baabwe mu ndagu mbu basobole okukola obulungi ebigezo, tukivumirira ekyo kuba ffe abaana abaffe tubayigiriza eddiini ssaako okwekwasa Katonda mubuli nsonga eri mubulamu bwabwe.” Mutesasira bweyayongeddeko

Yagambye nti abayizi babadde babaleetera abasomesa abakugu ssaako naabo abagolola ebibuuzo nebongera okubabangula kubutya era nti olw’okuba abayizi abasinga baatandika nabo okuva mu nnassale, balina essuubi nti bye babasomesezza bagenda kubikola bulungi ate bayitire waggulu.

Abakulira wamu n'abaana mu kusaba

Abakulira wamu n'abaana mu kusaba


Abayzi 50 bebagenda okutuula ebigezo byabwe ku ssomero lino, era Mutesasira yagambye nti tebasubirayo mwana yenna agenda kwenyigira mumbeera ya kukoppa, kuba bazze bakivumirira okuviira ddala omwaka nga gwakatandika n’abayizi nabo nebatakiketako ssira
Tags: