Maama w’abaana eyasiba ebintu byonna n’awangulamu n’oluggi lw’omu nnyumba n’anoba nalwo, awadde bba obukwakkulizo nti bw’aba ayagala akomewo alina okukyawa omukazi omukadde gwe yafunye nga nnamba bbiri.

Collins Kafeero Ow'amaka e Kayunga Ng'ayogera.
Omusajja akalambidde nti kikafuuwe okukyawa mukazi we ow’okubiri kubanga yagenda okumufuna ng’amwagala era bombi bakazi be abaagala.
Bano abatuuze ku kyalo Kiseera “B” mu ggombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga, tubasanze mu ofiisi etaawulula ensonga z’amaka, abaana n’eddembe ly’obuntu ekulirwa Collins Kafeero, eno poliisi y’e Nakyessa gye yabasindise okugonjoola ensonga zaabwe.
Namuzungu agambye nti bba musajja mufunampola (omwavu) kubanga amutaddemu ssente nnyingi okulabisaako obulungi noolwekyo tasobola kulabirira bakazi babiri ate nga nnamba bbiri gwe yafunye aliko abaana bangi.
Omukazi abadde akyatenda muggya we okubeera luwedde ku mpagala, bba Wamiri n’amubakira n’amujjukiza nti naye we yamufunira yali ggaali ekozeeko ng’avuddemu ebiwanga bibiri.
Namuzungu agamba nti bba bw’aba takyaye mukazi oyo omukadde amusasule ebintu bye byonna by’azze amuwa omuli embizzi, ente ne ssente obukadde 2 baawukane.

Wamiri ne Mukazi We Namuzungu.
Namuzungu agambye nti ebintu bba by’amulangira okusiba n’anoba nabyo ebimu okuli ekitanda, omufaliso, bbeedi kkava omukazi by’amuweebwa abazirakisa be yabuuliranga nti basula ku mukeeka wansi ku ttaka kuno kw’ossa bulangiti omukazi gye yasanga ng’omugagga agenda kugisuula ku kasasiro n’agimusaba era n’agimuwa era gye babadde beebikka, bba tagulangayo bulangiti ndala.
Collins Kafeero agambye nti abafumbo bano balina bingi bye bayiseemu omuli n’okulwana, omukazi n’atema omusajja ejjambiya mu kyenyi wabula kye kiseera byonna ebibaawula babireme basonyiwagane.
Kafeero abawabudde nti eky’okubaawukanya takisobola wabula okubagatta obugassi era bwe baba baagala okwawukana balina kugenda mu kooti omulamuzi abasalirewo.
Baakuddamu okutuula wiki ejja bongere okwogera okuzibikira ebituli buli omu by’alina ku mutima.