KKOOTI esalidde musajjamukulu awerennemba n'omusango gw'okwefuula ky’atali n’afuna ssente obukadde 33 n’ekitundu mu lukujjukuju okuva ku munne ng’amulimbye okumuguza ettaka ly'ekibanja ky’ataatuukiriza.

Ssonko ng'asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olwakulembeddwa Mercy Yamangusho Khaidara, kigambibwa nti wakati w'omwezi gwa February 2021 ne August 2022 mu bitundu by'e Kamwokya Muganga yakozesa olukujjukujju n’afera ssente obukadde 33 n’ekitundu ku Moses Kibedi ng’amusuubizza okumuguza ettaka ly'ekibanja ky’ataatuukiriza.
Omulamuzi Nicholas Aisu ategeezezza nti Muganga kyakulabirako kibi mu kitundu gy’awangaalira era nga balina okuziyiza abantu abalala okumulabirako ng’ekibonerezo ekisembayo mu musango guno kya kusibibwa emyaka etaano.
Wabula olw'okuba nti akuliridde mu myaka n’amuwa ekibonerezo ekisaamusaamu eky'okusasula fayini ya bukadde 3 mu nnaku 30 bw’alemererwa asibibwe emyaka ena mu kkomera ate bw’amaliriza ekimu ku kibonerezo aliyirire Kibedi ssente ze.