Amawulire

Kattikiro wa Buganda ayolekedde Ssese ku mirimu emitongole

Katikkiro wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga ayolekedde esazza Ssese okusobola okuwa obubaka obw’enjawulo eri abantu ba beene.

Kattikiro wa Buganda ayolekedde Ssese ku mirimu emitongole
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

Katikkiro wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga ayolekedde esazza Ssese okusobola okuwa obubaka obw’enjawulo eri abantu ba beene.

 

Ono waakulambula abantu ba beene ku kizinga Bubeke ekisangibwa mu ggombolola y’e Bubeke ng’annyikiza obubaka obw’okwetangira akawuka ka mukenenya.

 

Mukuumaddamula waakusisinkana abantu ku kizinga Buggala ng’annyikiza obukulu obuli mu bwegassi mu bibiina ebyenkulaakulana.

 

Obugenyi buno waakubumalako ennaku ssatu nnamba era awerekeddwako abakungu ab’enjawulo.

Tags:
Mayiga
Mirimu
Katikkiro
Buganda
Ssese