Amawulire

Kitalo! mmotoka eyabise omupiira n'esaabala abeebigere 4 ne bafiirawo!

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kassanda, mmotoka bw'eyabise omupiira n'eremerera dereeva waayo, neebatomera era neyefuula emirundi egiwerako.

Kitalo! mmotoka eyabise omupiira n'esaabala abeebigere 4 ne bafiirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kassanda, mmotoka bw'eyabise omupiira n'eremerera dereeva waayo, neebatomera era neyefuula emirundi egiwerako.

 

Akabenje kagudde ku kyalo Kigoloba ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende, mmotoka ekika kya Noah nnamba UBQ 511T bw'eyabise omupiira ate ng'ebadde ku misinde mingi, n’etomera abeebigere ku mabbali,ate era ne yeefuula.

 

Abafudde, ye Patrick Kalyesubula, Paul Tumuhiirwe, omulala ategeerekeseeko erya Moses n'omusajja omulala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti ddereeva adduse bamunoonya nga n'emirambo gitwaliddwa mu Kiganda Health Centre IV okwekebejjebwa.

Tags:
Amawulire
Kufiirawo
Mupiira
Kwabika