Kkooti enkulu eya Wakiso ezzeemu okukunya munnakibiina kya NRM Hajji Abdul Kiyimba ku ‘DR forms’ ze yaleeta mu Kkooti eno ezitakwatagana ng’awakanya obuwanguzi bwa Emmanuel Magoola eyali ku bwannamunigina ku bubaka bwa Busiro East.
Bano babadde mu maaso g’omulamuzi George Okello alagidde omusango guno okuddamu enkya Kiyimba ayongere okubuuzibwa ab’akakiiko k’ebyokulonda.
Bannamateeka ba Hajji Kiyimba nga bakulembeddwa Ibrahim Walusimbi bategeezza nga bwe balina obujulizi bwonna obwetaagisa okuwangula omusango.
Ate ye magoola ne munnamateeka we Jamiru Mpiima bategeezezza nga Kiyimba bwe yajingirira ebiwandiiko bye yaleeta mu kkooti eno ne bakinogaanya nti talina bujulizi bwa ssimba okuwangula omusango.