Amawulire

Omuserikale eyanoonyereze ku bizibiti by'emmundu ezaasangibwa ne Besigye ne banne agambye tamanyi gye biri

Omujulizi mu gwa Dr. Besigye abuulidde kkooti nti eby’emmundu ezaasangibwa n’abawawaabirwa baazimuwaako nga ebiziti kyokka olupapula kwe yawandiika okukakasa ebyo oludda oluwaabi tebalulinaako.

Omuserikale eyanoonyereze ku bizibiti by'emmundu ezaasangibwa ne Besigye ne banne agambye tamanyi gye biri
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Omujulizi mu gwa Dr. Besigye abuulidde kkooti nti eby’emmundu ezaasangibwa n’abawawaabirwa baazimuwaako nga ebiziti kyokka olupapula kwe yawandiika okukakasa ebyo oludda oluwaabi tebalulinaako.

 

Omuserikale Benedict Odyek eyakola okunoonyereza ku ffayiro ya Dr. Besigye, Hajji Obed Lutale ne Capt. Denis Oola yagambye nti yafuna emmundu ekika kya pistol bbiri okuva mu kitongole kya magye ekisangibwa e Mbuya n’amasasi gaazo wabula mu kiseera kino tamanyi gye ziri.

 

Ono abadde asoyebwa ebibuuzo bannanateeka ba Hajji Lutale abaakulembeddwa Farouk Kizito Kamulegeya n’ategeeza nti akapapula akaawandiikibwako ebizibiti ke yakola ku mmundu ezo yakateeka ku ffayiro kyokka Thomas Jatiko ow’oludda oluwaabi agambye nti tebakalina.

 

Odyeke bw’abuuziddwa ku by’emmundu agambye nti ebyo bya kyama tayinza kubyogera mu lujudde.

 

Ono era agambye nti okunoonyereza kwe yakola yalinga alung’amizibwa ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti wadde nga ebbaluwa gy’aleese eraze nti okunoonyereza yakukola ng’ate abawawaabirwa fayiro yaabwe eri mu kkooti ya magye bawerennemba na misango.

 

Odyek era ategeezezza nti yafuna n’ebbaluwa ya kkooti emukkiriza okujja obujulizi mu ssimu za Andrew Wilson n’akakuufu ke yakozesa okukwata amaloboozi bwe yali asisinkanye Besigye.

 

Ayongeddeko nti obutambi obwamuweebwa ebigambo byali biwulikika bulungi n’obutambi nga bulabika bulungi era yawulira byonna Besigye ne banne bye baali bateesa n’omuzungu.

 

Omulamuzi Emmanuel Baguma omusango aguwadde enkya lwe guddamu bannamateeka bongere okusoya Odyek ebibuuzo.

 

Tags:
Amawulire
Dr. Besigye
Capt. Denis Oola