OMUSOMESA omulala agambibwa okusangibwa n'ebigezo eby’akamalirizo ebya PLE ebituulibwa abayizi ba P7 asimbiddwa mu kkooti n’asomerwa omusango gwe yeeganye.

Okuva Ku Ddyo; Dickson Tugeineyo , Deogracious Opio, Ismail Madete, William Olwa, Bruno Lyazi Ne Nathan Ssebulonde (1)
Okello yeegasse ku bawawaabirwa abalala abagambibwa okusangibwa n'ebigezo bino abali ku limanda e Luzira ku musango gwe gumu okuli Dickson Tugeineyo, Deogracious Opio, Ismail Madete, William Olwa, Bruno Lyazi ne Nathan Ssebulonde amanyiddwa nga Jungle.
Omuwaabi wa gavumenti, Grace Miriam Akite ategeezeza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso mu musango guno omulamuzi Karakire n’agwongezaayo okutuusa nga November 10, 2026.