Amawulire

RDC ayingidde mu by’ettaka erikaayanirwa e Bunnamwaya

AMYUKA RDC wa Makindye Ssaabagabo ayimirizza enkulaakulana yonna ku ttaka eryali ery’omugenzi Yoswa Kalega eriri e Bunnamwaya mu Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso olw’enkaayana mu ffamire.

RDC ayingidde mu by’ettaka erikaayanirwa e Bunnamwaya
By: Peace Navvuga, Journalist @New Vision

AMYUKA RDC wa Makindye Ssaabagabo ayimirizza enkulaakulana yonna ku ttaka eryali ery’omugenzi Yoswa Kalega eriri e Bunnamwaya mu Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso olw’enkaayana mu ffamire.


Ettaka lino nga lyali liweza yiika nnya kati lisigaddeko desimoolo ttaano zokka nga abaffamire balumiriza omu ku booluganda okulitunda.

Rdc Balinda ng'annyonnyola

Rdc Balinda ng'annyonnyola

Amyuka RDC, Vicky Balinda yatuuseeko ku ttaka lino oluvannyuma lw’omu ku bazzukulu mu luggya, Henry Kazibwe okwekubira enduulu nti, ssengaabwe, Duruka Bulya atunze ettaka okulimalawo.

 

Wabula Bulya yannyonnyodde nti, ettaka lino lyagabanyizibwa era nti, Kazibwe yaweebwa omugabo gwa kitaawe, kyokka n’akkiriza nti, kituufu yatunda ku ttaka lino okwejjanjaba. Balinda yayimirizza enkulaakulana ku ttaka lino okutuusa ng’amaze okukola lipooti ku byazuuliddwa.

Tags:
Amawulire
Bunnamwaya
Ttaka
RDC
Kuyingira