Amawulire

Omuliro gwokezza bya bukadde mu kisulo ky'abayizi nga beetegekera ebya PLE e Sironoko!

WABADDEWO akasattiro, omuliro bwe gukutte ekisulo ky'abayizi ne gusaanyaawo ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi .

Omuliro gwokezza bya bukadde mu kisulo ky'abayizi nga beetegekera ebya PLE e Sironoko!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

WABADDEWO akasattiro, omuliro bwe gukutte ekisulo ky'abayizi ne gusaanyaawo ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi .

 

Bibadde ku ssomero lya Prime Junior School ku kyalo Bunanimi cell Southern Ward  e Sironko, era ng'ebintu by'abayizi ebiwerako omuli ebitabo, engoye, kkeesi , engatto amasuuka, bulangiti , emifaliso n'ebirala , biweddewo.

Omuliro ogwasaanyizzaawo ebintu

Kigambibwa nti abayizi okuva ku kibiina kya P1 okutuuka ku P4  babadde basindikiddwa awaka okusobozesa abayizi b'ekibiina eky’omusanvu okukola obulungi ebigezo byabwe nga tebataataaganyiziddwa.

 

Ekisulo ky'abayizi abo kibadde kisibe nti kyokka balabidde awo nga muvaamu omukka mu kasolya era omuliro ne gusaasaana ne gwokya ebintu by'abayizi, omukulu w'essomero Okwir Kizito 35, n'atemya ku poliisi ebadduukiridde.

 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso  okuzuula ekivuddeko omuliro so ng'era tewali muyizi alumiziddwa wadde okufa.

Tags:
Amawulire
Muliro
Kisulo
Bayizi
Sironko
Bigezo
Bukadde