Amawulire

Omu ku babbooda abagambibwa okuteega abantu ne bababba asindikiddwa Luzira!

OMU ku bagoba ba bodaboda abatambulira mu bibinja ne banyagulula abantu mu budde bw’ekiro bumukeeredde, akwatiddwa oluvannyuma n’okubba omu ku batambuze n’asimbibwa mu kkooti nayo emusindise mu kkomera e Luzira.

Omu ku babbooda abagambibwa okuteega abantu ne bababba asindikiddwa Luzira!
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

OMU ku bagoba ba bodaboda abatambulira mu bibinja ne banyagulula abantu mu budde bw’ekiro bumukeeredde, akwatiddwa oluvannyuma n’okubba omu ku batambuze n’asimbibwa mu kkooti nayo emusindise mu kkomera e Luzira.

 

Sunday Mugerwa 34, wa bodaboda omutuuze w’e Kibumbiro e Busega mu Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo mu maaso g’omulamuzi wa Adams Byarugaba n’aweebwako obujulizi bw’okutaayiza Isaac Kamoga ne bamubbako emitwalo 40 bwe yali ava okukola.

Mugerwa mu kaguli ka kkooti

Mugerwa mu kaguli ka kkooti

Kigambibwa nti mu kiro kya nga May 16, 2026 mu bitundu by’e Kigwanya e Busega, Sunday eyali ku pikipiki ne banne basatu, baasalako Kamoga eyali adda awaka ne bamusiba emiguwa kw’ossa okumukuba, baagattako n’eky’okumubba ssente ze yalina mu nsawo.

 

Charles Sseppuuya 44, omutuuze eyawulira nga batulugunya Kamoga yawadde obujulizi n’ategeeza nti yawulira neduulu ekiro ku ssaawa 7:00 n’afuluma okulaba ogubadde.

 

Mu kwetegereza nga bali ku muliraanwa we gwe baliko nga bakuba. Yategeezezza nti abasajja baali bana nga balina pikipiki bbiri abamu kwe batudde nga Ssande n’omulala abaali bampadde bikabuuti basibye Kamoga emiguwa bamukuba ensambaggere.

 

Ono yagambye nti yaleekaana ne badduka kyokka ye Sunday n’akwatibwa. Mu kwewozaako yategeeza nti akola ne poliisi baakwasisa mateeka mu kiro. Newankubadde yayogera atyo, bwe baakubira Poliisi baamwewakana era n’atwalibwe okuvunaanibwa.

 

Yeewozezzaako nga bw’atamanyi byaliwo kyokka ng’omujulizi akanya kumulumiriza nga bwe yamulaba n’amaaso abiri era ku olwo yali ayambadde n’ekikooti ekimyufu era n’okusiba emiguwa ye yali asibye ng’abalala bwe bakuba.  Gwongezeddwayo okutuuka nga November 10, 2026 okuleeta obujulizi obulala.

Tags:
Amawulire
Luzira
Kubba
Bagambibwa