EKITONGOLE kya KCCA kyakwongera okuwanika amataala mu kibuga n'ekigendererwa eky'okulwanyisa obumenyi bwa mateeka naddala mu bitundu by'enzigotta

LoodiMmeeya Wa Kampala Ronald Balimwezo ng'annyonnyola.
Loodimmeeya wa Kampala Ronald Balimwezo Nsubuga yategeezezza nti ekitongole kya KCCA kifunye ebitaala 210 bye kigenda okuteeka mu bitundu by'enzigota mu ggombolola 5 ezikola Kampala okuli; akatale ka Katwe II e Makindye, e Mutungo mu Nakawa, Kazo Angola e Kawempe, e Rubaga mu zzooni ya Kabaawo ne Kamwokya
Balimwezo yategeezezza nti kkampuni ya "Phillips" ng’eyita mu kitongole kyayo ekya "Signify" mu kiseera kya Covid baabawa ebitaala 1100 agaatekebwa mu bifo omuwangalira ababundabunda, mu malwaliro 105 nayo ne bassaayo nga n'okutuusa kati gakyakola
Yinginiya wa KCCA alondoola amataala gano Abudallah Ssennyonjo yategeezezza nti mu kiseera kino baakuteekayo amataala 210 wabula nga obwetaavu bukyali bwa mataala 42,000
Balimwezo yalabudde bakontulakita ababawa ebitaala ne bitawangaala n'abalondoola emirimu gino okwesuulirayo ogwannagamba nti baakukangavvulwa.
Agamba nti baakutondawo obukiiko obunaalondoola buli ekikolebwa ku kkubo era abo ababba ebitaala n'ababikoona nga batamidde baakukwatibwa amateeka gabalamule
Paul Peters akola n'ekitongole kya signify yagumizza bannayuganda nti baakuweebwa amataala amatuufu agali ku mulembe era nga batendese abantu ku nkwata y'ebitaala bino okusigala nga birondoolebwa okubeera mu mbeera ennungi
Yue Cui ddayirekita w'ekitongole kya signify yategeezezza nti baalaba obwetaavu bw'ebitaala mu Uganda era bannayuganda ne balaga okusiima nabo ekisigadde nga kibawa amaanyi okubissa mu bitundu ebiri mu katyabaga