Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Piki ezaasangiddwa we baggyiramu amafuta
Byonna ebikwatiddwa n'emmotoka, bikuumirwa ku poliisi e Kabalagala ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ebimu ku bidomola ebyasangiddwayo n'empiira ezaakwatiddwa
Kino kidiridde emikutu gya Vision Group omuli ne Bukedde, okufulumya obubbi bw'amafuta e Kibuli, Lugogo ne Luzira nga kigambibwa nti bulimu abajaasi n'abaserikale b'ebitongole ebirala.
Ekikwekweto kiyindidde mu Agip zzooni ne Kitooro e Kibuli mu Makindye Division mu Kampala era nga kikyagenda mu maaso okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire