POLIISI e Luweero ekutte abantu bataano abagambibwa okuba mu lukwe lw'okubba omwana ow'emyaka 5 eyabadde agenze okugula kabalagala.
Bazadde be Hassan Wassanga ne nnyina Joyce Babirye ensonga ne bazikwasa poliisi.
Nga Oct 29, omusajja Muhammad Ssekanjakko yalumbye abazadde b'omwana ng'agamba nti aliko omusawo w'ekinnansi gw'alumiriza okubeera n'omwana era poliisi n'emukwata (omusawo) n'omukyala eyasangiddwa mu ssabo.
Oluvannyuma ennyo, kyategeerekese nga Sekanjakko ye yabadde mu lukwe lw'okuwamba omwana era nga yali yamutwalira muganda we Frank Musisi nga bali ne mukyala wamu ne nnyina amuzaala, n'amubalekera bamumukuumire ku kyalo Nkologe mu muluka gw'e Nakikota e Luweero, poliisi gy'emusanze.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twineamazima, agambye nti Ssekanjakko bamulina, muganda we Musisi yadduse , mukyala we ne nnyina nabo babalina ,ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.