Amawulire

Owabbooda atemudde muganzi we n'amupakira mu kisawo omulambo n'aguwanika waggulu mu kazigo.

Abatuuze mu zzooni ya Kibira Cell B e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, baguddemu entiisa, omusajja bw'asse muganzi we n'amupakira mu kisawo omulambo n'aguwanika waggulu mu kazigo.

Owabbooda atemudde muganzi we n'amupakira mu kisawo omulambo n'aguwanika waggulu mu kazigo.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abatuuze mu zzooni ya Kibira Cell B e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, baguddemu entiisa, omusajja bw'asse muganzi we n'amupakira mu kisawo omulambo n'aguwanika waggulu mu kazigo.

Ndaga muntu y'omusajja eyasse muganze we (wansi)

Ndaga muntu y'omusajja eyasse muganze we (wansi)

Bibadde ku nnyumba za Ssali, omuwala ono gy'abadde amaze emyezi ng'ena ng'apangisizza akazigo era ng'ono omusajja Eddie Muliika amanyiddwa nga Asernal, omuvuzi wa boda boda ewa Lupalaanga,  gy'abadde amusanga n'amuganza.

 

Kigambibwa nti babadde bombi mu kazigo omuwala ono ategeerekese nga Lilian Katusiime k'abadde apangisa okumala ebbanga lya myezi ng'ena so ng’era n'omusajja oluusi asula mu kazigo ke e Wampakumukka.

EKisawo mwe baasanze omulambo

EKisawo mwe baasanze omulambo

Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino, Wasswa Luwandagga, agambye nti kisuubirwa nti omuwala yamusse kiro nti kumakya leero , n'agezaako okusomba ebintu okuva mu nnyumba abulewo , nnyini mayumba kwe kumukazaakaza n'amwesimattulako n'adduka.

 

Agasseeko nti bagenze okwaza mu nnyumba, bagudde ku mulambo gw'omuwala nga bamupakidde mu kisawo , kwe kutemya ku poliisi y’omu Kikajjo.

 

Tags:
Kitalo
Masajja
Mulambo
Musasi
Kuwanika