Amawulire

Omuzaalisa agambibwa okubba eddagala lya gavumenti asuze Luzira!

Omuzaalisa mu ddwaliro ly’e Luwero asindikiddwa mu kkomera lwa kubba ddagala lya gavumenti

Omuzaalisa agambibwa okubba eddagala lya gavumenti asuze Luzira!
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Omuzaalisa mu ddwaliro ly’e Luwero asindikiddwa mu kkomera lwa kubba ddagala lya gavumenti.

 

Irene Marion Namugabi nga musawo omuzaalisa mu ddwaliro ly’e Luwero asimbiddwa mu kkooti eya Standards, Utilities and wildlife e Makindye n’avunaanibwa okubba n’okubeera n’eddagala lya gavumenti.

Namugabi eyavunaaniddwa

Namugabi eyavunaaniddwa

Ono kigambibwa nti emisango yagizza nga October 7,2026 ku ddwaliro e Luwero bweyasngibwa neddagala erya ARV emikebe 46 egigambibwa nti yali agibbye.

 

Oludda oluwaabi era lugamba nti Namugabi mu maka agasangibwa mu ddungu zone e Kikaya mu Kawempe yasangibwa n’eddagala eryo, paleti ya ppamba ,ssaako ggoozi ebbaasa bbiri nga ziriko laama ya minisitule y’ebyobulamu eya gavumenti ya uganda n’ebigambo ebikakasa nti teritundibwa.

 

Emisango gimusomeddwa omulamuzi Gladys Kamasanyu era gyonna Namugabi agyegaanye.

 

Omuwaabi wa gavumenti Martin Arinitwe ategeezezza nti okunonyereza kuwedde era Namugabi asindikiddwa mu kkomera oktuusa nga November 10, 2026 okuwulira obujulizi.

 

Tags:
Amawulire
Gavumenti
Ddwaaliro