Amawulire

Agambibwa okutta omuyimbi Moses Matovu addiziddwayo mu kkomera lwa mulamuzi butajja

Omusajja Vincent Anorld Nsamba ng’oluusi yeeyita sitenda agambibwa okutta omuyimbi Moses Matovu azziddwa mu kkomera, olw’okuba omulamuzi ali mu musango gwe taliiwo

Agambibwa okutta omuyimbi Moses Matovu addiziddwayo mu kkomera lwa mulamuzi butajja
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Omusajja Vincent Anorld Nsamba ng’oluusi yeeyita sitenda agambibwa okutta omuyimbi Moses Matovu azziddwa mu kkomera, olw’okuba omulamuzi ali mu musango gwe taliiwo.

 

Nsamba 47 abadde akomezeddwawo mu kkooti e Makindye okuwulira okunoonyereza we kutuuse era aleeteddwa ab’amakomera wabula tasimbiddwa mu kkooti kubanga omulamuzi Ann Sarah Basemera ali musango tabaddewo olwo n’aweebwa olwa December 12,2026 lw’agenda okuzzibwa mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutunaaba kutuuse.

Nsamba mu kaguli ka kkooti

Nsamba mu kaguli ka kkooti

Oludda oluwaabi lugamba nti nga September 24, mu Market B zzooni e Kibuli mu munisipaali y’e Makindye mu Kampala n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwako yatta Moses Matovu.

 

Kigambibwa nti Nsamba okutta Matovu waaliwo enkaayana ku muwala Rose Tumusiima eyali muganzi wa Nsamba ate n’amusanga ne Matovu.

Tags:
Amawulire
Kkomera
Kutta
Muyimbi
Kkooti