Amawulire

Emmaali y’omugagga ya buwumbi erugenda

DR. Mathias Magoola, owa kkampuni ya Dei BioPharma Ltd, ekola eddagala eby'obugagga bye byolekedde okutwalibwa, olw’amabanja agamutuuse mu bulago.

Ebimu ku byuma ebiri mu kkolero lya kkampuni ya kkampuni ya Dei BioPharma Ltd
By: Lawrence Kizito, Journalist @New Vision

DR. Mathias Magoola, owa kkampuni ya Dei BioPharma Ltd, ekola eddagala eby'obugagga bye byolekedde okutwalibwa, olw’amabanja agamutuuse mu bulago.

Dr Magoola Ng'annyonnyola

Dr Magoola Ng'annyonnyola

Mu by’obugagga ebyolekedde okutwalibwa, mwe muli ne fakitole y’eddagala etudde ku
yiika 400 e Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Ng’oggyeeko fakitole eno, n’ebyobugagga bya Magoola ebirala omuli ebizimbe ebipangisibwa, ettaka okuli kkampuni ze endala,

n’ennyumba ezisulwamu, byonna bbanka yabitadde ku lukalala lw’ebintu ebigenda
okutundibwa.


Okusinziira ku kirango ekyafulumidde mu mpapula z’amawulire ku Lwokuna,
Magoola ne kkampuni ye eya Dei Industries Internantional Limited, baaweereddwa ennaku 30 zokka okusasula ebbanja eribabanjibwa, oba si ekyo ebyobugagga ebiri eyo mu buwumbi n’obuwumbi bwa ssente bitundibwe.


Kkampuni ya Magoola gavumenti yaakagiteekamu obuwumbi 724, ez’omuwi w’omusolo okuva mu 2023, n’ekigendererwa eky’okumuyamba okugonza emirimu gye egy’okufulumya eddagala, okusobola okuyamba Bannayuganda okufuna eddagala ery’omutindo ku bbeeyi layisi, n’okugaziya akatale ka Uganda ak’eddagala mu mawanga amalala, okusobola okukulaakulanya eggwanga.

EBY’OBUGAGGA BYA MAGOOLA EBIRUGENDA

Eby’obugagga bya Magoola ebirugenda kuliko Yiika 20 okutudde ebizimbe bya fakitole
y’eddagala e Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso, ku Block 82, Plot 988, 3325, ne 3326.
Ettaka eddala liri Kyamuli – Kungu ku Block 82, plot 3238, 4778, ne 4779, nga liri mu mannya ga kkampuni ya Dei Natural Products Internantional Limited, ne Mathias Magoola.


Kuliko n’eddwaaliro erisangibwa e Kitende mu disitulikiti y’e Wakiso, nga litudde ku Block 383, Plot 5641 ne 5642, mu mannya ga Dei Industries Internantional Limited.

Ettaka okutudde fakitole ekuba engano, erisangibwa e Luzira ku Link Road, nga liri mu mannya ga Dei Industries Internantional Limited, nalyo liri ku lukalala lw’ebigenda okutundibwa ku nnyondo.

Ebimu Ku Byuma Ebiri Mu Kkolero Lya Kkampuni Ya Kkampuni Ya Dei Biopharma Ltd

Ebimu Ku Byuma Ebiri Mu Kkolero Lya Kkampuni Ya Kkampuni Ya Dei Biopharma Ltd


Ku lukalala era kuliko n’ekizimbe kya bizinensi ekisangibwa ku Block 6, Plot 491
e Katwe mu Kampala. Ettaka kwe kitudde liri mu mannya ga Dei Industries International
Limited.


Ennyumba ya Magoola ey’amaka esangibwa e Muyenga – Kisugu ku Block 244 Plot
1112, nayo eri ku lukalala.Eby’obugagga ebirala kuliko ekizimbe ekipangisibwa ekisangibwa e Seguku ku luguudo lw’e Ntebe, ku Block 266 Plot 149.


Abapangisa n’abakozi abali mu bizimbe bino, baweereddwa ennaku 14 zokka okubyamuka, okusobozesa abaguzi okubirambula obulungi nga tewali abataataaganya.


ENGERI GAVUMENTI GY’EZZE ETEEKA SSENTE MU KKAMPUNI YA MAGOOLA

Ebintu bya Magoola okutwalibwa, bireetedde Bannayuganda
okwewanika emitima, kubanga ssente z’omuwi w’omusolo ezisoba mu buwumbi 723, Gavumenti ze yaakateeka mu kkampuni ye ekola eddagala mpitirivu.


Mu mwaka gw’ebyensimbi 2023/24, gavumenti yawa Magoola obuwumbi 70, mu December wa 2023 ne bamwongera obuwumbi 75, ate mu 2024 gavumenti n’emuteekamu obuwumbi 578 n’obukadde 400, okusobola okusasula amabanja n’okugula ebyuma ebikola eddagala.


Wabula abantu ab’enjawulo bazze balaga obutali bumativu olwa Gavumenti okuteeka ssente mu kkampuni ey’omuntu ssekinnoomu, nga bagamba nti omuwi w’omusolo yandifiirizibwa singa kkampuni eyo efuna obuzibu mu by’ensimbi.


Mu 2025, omubazi w’ebitabo bya Ggavumenti, Edward Akol yalaga ebirumira mu pulaani ya Gavumenti okuteeka ssente mu kkampuni eno, ng’agamba nti ebiwandiiko ebimu ebikulu tebaabimulaga bwe yali yeetegereza ebitabo byabwe, era ne kimubeerera kizibu okumanya omuwendo gw’emigabo gavumenti gy’erina mu kkampuni eno.

Tags:
Dei BioPharma Ltd
Dei Industries Internantional Limited
DR. Mathias Magoola

Emboozi Ezifanagana