ABAZIGU ababadde batambulira mu mmotoka ya buyonjo bataayizza omusuubuzi mu
kibuga Lugazi ne bamunyagako ensimbi obukadde 36 z’abadde yaakaggya mu banka ng’agenda kuzigulamu mmotoka.

omusuubuzi eyataayiziddwa abazigu
Bwe baamaze okumubba ne balinnya mmotoka yaabwe, wabula mu kanyoolaganoBino byabadde Lugazi abazigu bwe baataayizza Muhamood Kintu omusuubuzi mu kibuga Lugazi eyabadde ne batabanibe babiri mu mmotoka ye ekika kya Premio nga baabadde bagenda mu bitundu by’e Bugerere okugula mmotoka.

Omu kubabbi eyakwatiddwa ng'akubiddwa mizibu

Kasiringi nga esitula emotoka y'abanyazi eyawabye neeva ku luguudo
Olwafulumye ne bamulagira okweyambulamu essaati ne bamuyingiza mu mmotoka yaabwe . Baagezezzaako okusimbula mmotoka ye wabula ne bamenyeramu ekisumuluzo, olwo ye kwe kufubutuka mu mmotoka gye baabadde bamutaddemu n’adduka ng’akuba enduulu abantu ne batandika okujja okumudduukirira.
Wano ababbi we baakwatidde omu ku batabani be be yabadde nabo ne bamuyingiza mu mmotoka yaabwe ne bavuga nga badda e Jinja.

Abakuuma ddembe nga batuuse awaagudde emotoka yabanyazi
Kyategeerekese nti abazigu bano wadde baabadde bavuga badde Jinja , naye baakyusizza ne badda emabega ne bakyukira mu ssamba z’ebikajjo ne bakwata olw’e
Buikwe.

Omusirikale ng'alaga ebimu ku byambalo ebyefaananyiriza eby'amagye abazigu bye baabadde nabyo